TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kojja yeekobaanye n'omukozi ne bawamba omwana wa mwannyina

Kojja yeekobaanye n'omukozi ne bawamba omwana wa mwannyina

Added 16th June 2018

KOJJA w’abaana aluse olukwe ne yeekobaana n’abazigu ne bawamba omwana wa mwannyina ow’omwaka ogumu n’ekitundu ne basaba obukadde 50 okumukomyawo.

Bya SARAH ZAWEDDE NE REGINA NALUNGA

Brian Lukwago yeekobaanye ne Henry Kato nga dereeva wa waka wamu ne Jamirah Nantongo 20 ng’ono ayita Namuddu ssenga ne bawamba Blick Lee Jr. omwana wa Gloria Namuddu.

Namuddu, mutuuze mu Kitala zooni e Kanyanya ng’omwamiwe ye Blick Lee Sr. Lukwago yamatizza abazigu nti mwannyina Namuddu ne mukoddomi we balina obusobozi obubawa ssente zino mu bwangu.

Nantongo yabadde amuyambako okuwerekera abaana ku ssomero mu mmotoka nga naye beefudde abamuwambye. Namuddu yagambye nti yeewuunyizza mutoowe Lukwago nga ye muggalanda ewaabwe engeri gye yeenyigidde mu kintu kino.

Yayongeddeko nti Kato yakimye abaana bange ababiri abasoma ku Kampala Parents nga bulijjo ku ssaawa nga 12.30 ez’oku makya ku Lwokuna. Nantongo yabawerekeddeko ng’asitudde muto waabwe Blick Lee gwe yabadde alina okuzza awaka.

Wabula ku ssaawa nga 1.00 ez’oku makya Jane Kyomuhendo yawulidde ekibwatuka ebweru nagenda okulaba ogubadde. Yasanze Kato agudde wansi kumpi ne mmotoka yaffe ey’ekika kya Noah nnamba UAY 819Q gye yabadde avuga nga bagyasiza endabirwaamu.

Kyomuhendo bwe yamutuuseeko yayogedde ekigambo kimu nti gamba mukama wange nti abazigu banzingizza ku mulyango gwa geeti ne bankuba oluvannyuma ne bawamba Blick ne Nantongo nga babuzeewo .

Twatandikiddewo okunoonyereza era twaddukidde ku poliisi e Kanyanya ne tuggulawo omusango ku fayiro SD:16/14/06/18.

Lukwago yatweyunzeeko ku poliisi ne tutandika okusalira awamu amagezi aganunula abawambe.

Bakira abaawambye abaana bankubira essimu nga bakozesa ssimu ya Kato nga banvuma nga bwe bategeeza nti balaba buli kigenda mu maaso era ne bandabula singa ndwawo okuweereza ssente zaabwe nga ndi mukuzungira ku poliisi abaana baabadde baakumutuusako obulabe.

Bandagiridde ssente nzitwale e Buloba nga tekuli ba bya kwerinda Arison Arinda nga yatwala poliisi ya Kanyanya yategeezezza nti ab’eby’okwerinda omwabadde ISO baabiyingiddemu ne batandika okubalondoola era Lukwago yalabye bitabuse kwe kukubira abalina abaana nti ddiiru eyiise babakomyewo.

Mu bbanga ttono, baakubidde Namuddu nti Nantongo akomyewo n’omwana nga bajjidde ku bodaboda era nga tebalina buzibu bwonna.

Omuserikale eyabadde awaka mu ngoye eza bulijjo yabeembekerezza owa boda okubatuusa ku poliisi e Kanyanya naye nga baasoose ku mukwata kyokka nayimbulwa nga bamaze okukitegeera nti talina buzibu.

Kato ne Nantongo abali ku poliisi ya Kanyanya baalonkomye Lukwago nti ye yaluse ddiiru eno nga yayongeddwaayo natwalibwa ku poliisi ya Kawempe.

Bagguddwaako omusango gw’okuwamba amuntu ng’okunoonyereza bwe kweyongerayo.

 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu