TOP
  • Home
  • Agookya
  • Ebyazuuliddwa mu maka ga Kayihura bitiisa

Ebyazuuliddwa mu maka ga Kayihura bitiisa

Added 18th June 2018

Ensonda zaategeezezza nti amagye gaazudde ebitiisa mu kasenge akeekusifu Gen. Kayihura gy’abadde yassa ebyuma ebyempuliziganya ebya tekinologiya ow’omulembe nga kigambibwa nti abadde ebyeyambisa okulumika amasimu g’abanene mu ggwanga.

 Kayihura

Kayihura

AMAGYE gazzeemu okwaza amaka ga Gen. Kale Kayihura e Muyenga. Kyategeezeddwa nti baagaazizza nga Gen. Salim Saleh waali.

Abaayazizza baakuliddwa omumyuka w’omuduumizi w’amagye ga UPDF, Lt Gen Wilson Mbadi eyaweereddwa obuvunaanyizibwa okukwanaganya ebyokunoonyereza ku Gen. Kayihura. Baagaazizza ku Lwomukaaga akawungeezi.

Baayazizza mu nju ennene n’enju entono mu kikomera ne balinnya ne waggulu mu siiringi wakati mu kwerinda okw’amaanyi.

Ensonda zaategeezezza nti amagye gaazudde ebitiisa mu kasenge akeekusifu Gen. Kayihura gy’abadde yassa ebyuma ebyempuliziganya ebya tekinologiya ow’omulembe nga kigambibwa nti abadde ebyeyambisa okulumika amasimu g’abanene mu ggwanga.

Ebyuma bino birowoozebwa okubeera nga byagulibwa mu Algeria ku buwanaana.

Baasanzeeyo n’ebyuma ebiyitibwa GPS, nga kigambibwa nti abadde abikozesa okulondoola entambula z’abanene mu gavumenti n’omuntu yenna gy’aba alaga.

Abaayazizza ewa Kayihura beewuunyizza lwaki yeetuumako ebyuma eby'amaanyi bwe biti nti era newankubadde yandibadde abikozesa ku mirimu gya Gavumenti, yandibadde abiwaddeyo bwe yava ku kifo ky'omuduumizi wa poliisi.

Kyategeezeddwa nti era baasanzeeyo ne ssente. Kyokka Bukedde teyasobodde kumanya bungi bwa nsimbi zino, wadde nga twategeezeddwa nti kwabaddeko Pawundi za Bungereza, ddoola eza Amerika, EURO eza Bulaaya , Rands eza South Afrika, eza Uganda, Algeria, Kenya ne Rwanda.

Ebirala bye bazudde mwabaddemu bookisi z’amasaasi ag’emmundu ennene ez’ebika ebyenjawulo.

Ensonda zaagambye nti kino kyandimussa mu buzibu kubanga amateeka agafuga ebyokulwanyisa gakugira emmundu n’obungi bw’ebyamagye omujaasi by’abeera nabyo okusinziira ku ddaala ly’aliko.

Abantu babulijjo e Muyenga basanze akaseera akazibu, olw’ekkubo eriyita ewa Kayihura okuggalwa okumala ekiseera nga baaza ewa Kayihura.

Okunoonyereza ku misango gye bayinza okuvunaana Kayihura kukelembeddwa ebibinja bina okuva mu bitongole by’ebyekwerinda ebyenjawulo, okuli poliisi nga kino kikulemberwa AIGP Grace Akullo, Amagye Lt Gen Mbadi, ISO kikuliddwa Col Kaka Bagyenda ne CMI Brig Abel Kanduho.

Kayihura bamunoonyerezaako ku bigambibwa nti yakozesa bubi ofiisi mu kiseera we yali omuduumizi wa poliisi.

Bamuteekako okukwata obubi emisango gy’okutemula Kaweesi ate ng’abamu ku bamuli ku lusegere bavunaanibwa butereevu okwetaba mu butemu buno.

Kayihura era bakimuteekako nti basajja be babadde bakwata Abanyarwanda abanoonyi b’obubudamu ne babazzaayo ewa Paul Kagame era abamu ne battibwa.

Eggulo, Kayihura ng’ayita mu Balooya be aba Kampala Associated Advocates yafulumizza ekiwandiiko ku biriwo.

“Ebintu ebyogerwa ku Kayihura bikyamu. Kayihura talina musango. Byonna ebimwogerwako ne biyisibwa ku mikutu gy’amawulire si bituufu”, ekiwandiiko bwe kyagambye.

Ne kigattako nti abafamire ya Kayihura bakkirizibwa okwetaaya mu maka gaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...