TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti enkya waakulabikako mu Palamenti okwogera ku nsonga z'ebyokwerinda

Pulezidenti enkya waakulabikako mu Palamenti okwogera ku nsonga z'ebyokwerinda

Added 19th June 2018

Pulezidenti enkya waakulabikako mu Palamenti okwogera ku nsonga z'ebyokwerinda

 Museveni

Museveni

PULEZIDENTI Museveni waakwogerako eri Palamenti okunnyonnyola eggwanga ku mbeera y’ebyebyokwerinda nga bweyimiridde mu ggwanga. Jane Kibirige, omuwandiisi omukulu owa Palamenti yategeezezza nti Pulezidenti waakwogerako eri ababaka ku ssaawa 8.00ez’olweggulo ku Lwokusatu.

Wiiki ewedde Pulezidenti bwe yali ku mukolo gw’okusoma Bajeti y’eggwanga , yasaba Sipiikaamukkirize afune olunaku ayogerako eri ababaka ku mbeera y’obutebenkevu mu ggwanga.

Pulezidenti w’asaliddewo okuvaayo ng’eggwanga likyali mu kiyongobero ky’okutta omubaka wa Arua Munisipaali, Col. Ibrahim Abiriga eyattibwa mu ntiisa ne muganda we Lt. Saidi Kongo e Kawanda mu Wakiso.

Abantu babadde bakyali ku bunkenke olw’ettemu erisusse n’ebikolwa by’okuwamba abantu ne babuzibwawo. Wadde ng’abamu babadde beewamba naye mulimu abasangiddwa nga battiddwa.

Peter Ogwang (Usuk) yagambye nti Pulezidenti okuva lwasazeewo okusitukiramu akakasa nti obubinja bw’abatemu buno bwonna bajja kubulinnya ku nfeete. Kyokka Muwanga Kivumbi (Butambala) yagambye nti ensisinkano eno yandibadde n’amakulu singa ebadde ya kyama.

Yagambye nti okwogera kwa Pulezidenti akusuubiramu kugumya bantu ne bamusigansimbi baleme kutya ggwanga. Pulezidenti abatemula abantu azze abageraageranya ku mbizzi era n’awera nti balina okukolwako baanikibwe mu musana era bavunaanibwe mu mateeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...