TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balumirizza Katatumba okweyisa mu ngeri eyeesittaza

Balumirizza Katatumba okweyisa mu ngeri eyeesittaza

Added 19th June 2018

OMUYIMBI Angella Katatumba bamulumirizza okukola ebikolwa ebyasittaza mu wooteri nga kye kyamuviirako okutabangula embeera.

  Katatumba ng'ali mu kaguli

Katatumba ng'ali mu kaguli

BYA MARGRET ZALWANGO

Munnamateeka w’abakozi ba Chicken Tonight David Ojambo abadde asoya Katatumba ebibuuzo kw'ebyo by'agamba ebyamutuusibwako abakozi ba wooteri eyo n'amutegeeza nga bwe yali yenywegera ne mukwano gwe Kuzi gwe yali azze naye.

Katatumba yagambye nti okwenywegera takirabamu  buzibu kubanga kintu kyabulijjo nga kyali tekibeetaagisa kusooka kudda bbali ne mukwano gwe basooke beenywegere.

Omuyimbi ono nga yategezezza kkooti nti ya  maneja wa Hotel Diplomat e Muyenga yeeganye okubeera nti yalabulwako maneja wa wooteri ku neeyisa ye nga puliida w'abawawaabirwa bwe yabadde akimutaddeko nti baali benywegera bwe babagambako nebava mu mbeera ne bavuma abakozi ba wooeteri.

Babadde mu maaso g’omulamuzi omukulu owa kkooti y’e Makindye Erias Kakooza nga Katatumba awa obujulizi ku misango abakozi ba Chicken Tonight gyebavunaanibwa okuli okukuba omuntu ne bamutusaako obuvune obwamanyi saako okubba ssente obukadde mukaaga n’emitwalo 20.

Omuwaabi wa gavumenti Happiness Ainebyona asabye omulamuzi omusango gwongerweyo asobole okuleeta abajulizi abalala .

Kigambibwa nti nga April 2, 0mwaka guno Choka Olubrwoth maneja wa wooteri , Denis Okirot omukuumi ne John Kaddu abakozi ba Chicken Tonight ettabi ly’e Kabalagala baakuba Katatumba ne mukwano gwe Kuzi enzaalwa ye Jamaica oluvannyuma ne babbako ne ssente.

Omusango guweereddwa olwa July 24, lwegunaddamu okuwulirwa. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...