TOP

Mukyala wa Kayihura asattira

Added 20th June 2018

Mukyala wa Kayihura asattira

 Gen. Kale Kayihura ne mukyala we Angela Kayihura alwana okumuggya mu kaduukulu.

Gen. Kale Kayihura ne mukyala we Angela Kayihura alwana okumuggya mu kaduukulu.

MUKA Gen. Kale Kayihura, Angela Kayihura alwana kutaasa bba amuggye mu kaduukulu k’amagye mw’amaze ennaku mukaaga okuva lwe yakwatibwa ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde.

Okuva lwe baakwata bba, Angela ne famire ya Kayihura basisinkanye bannamateeka ba kkampuni ya Kampala Associated Advocates enfunda eziwera okusala entotto. Kuno kw’agasse okusisinkana bagenero mikwano gya bba okulaba engeri gye basobola okwogerezeganyamu n’omuduumizi w’amagye, Gen. David Muhoozi balabe engeri gy’asobola okuyambamu bba ayimbulwe.

Okusinziira ku nsonda eziri okumpi ne Angela, anoonya engeri yonna emutuusa ewa Pulezidenti Museveni awe ekiragiro bayimbule Kayihura awatali kumuggulako musango gwonna. Ensonda zaategeezezza nti, Kayihura ebbanga lye lyonna, abadde aweereza Gavumenti ya NRM, ssentebe wa NRM y’ali mu buyinza, tewali ngeri yonna gye yali aliddemu mukama we lukwe.

Wano Angela w’ayagala okusisinkanira Museveni amuyitiremu ku nsonga eno. “Tayagala bba kutwalibwa mu kkooti kubanga ye alowooza nti bya kumala budde, bba talina musango gwe yali azzizza gumutwaza mu kkooti.” Ensonda bwe zaategeezezza. Omu ku baalooya ba Kayihura okuva mu Kampala Associated Advocates, Elison Karuhanga bwe twamutuukiridde ku nsonga za Angela z’apanze okutaasa bba yagambye nti, bakola buli ekisoboka okumutaasa.

Yakikkaatirizza nti, talina musango gwonna gwe yali azzizza n’agamba nti, buli ekisoboka okukolebwa, bagezezzaako okukikola bamuggye mu mikono gy’abajaasi abaamukutte. “Saagala kukubuulira buli mutendera gwe tututte naye tukola buli ekisoboka omuntu waffe okumuggya mu kaduukulu kubanga talina musango.” Karuhanga bwe yagambye. Ku ky’okusisinkana abakulu mu magye yagambye nti, balina enteekateeka nnamutaayiika gye baliko. Yagasseeko nti, baayogeddemu nabo era boogerezeganya ku nsonga ezigenda mu maaso zonna.

Ate ku by’okusisinkana Museveni yategeezezza nti, bwe kinaaba nga kyetaagisa okumusisinkana abayambe okuwa ekiragiro okuta omuntu waabwe nakyo bajja kukikola.

BE YAWA EMMUNDU BASATTIRA Bannayuganda bangi omuli n’abagwira abaafuna emmundu okuva mu poliisi ku mulembe gwa Kayihura basattira. Emmundu ezisinga, pisito (Basitoola) ze babadde bakozesa okwekuuma ate abamu abalinamu amalala, babadde bazikozesa okutiisatiisa be batwala ng’ababalemesa.

Mu bano mulimu abalina ebifo eby’amaanyi mu Gavumenti eyaawakati, Gavumenti ez’ebitundu n’abasuubuzi banneekoleragyange naddala abasuubuzi ba zaabu. Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, wadde etteeka lya poliisi likkiriza omuntu waabulijjo alina ebisaanyizo okuweebwa emmundu ng’amaze okutendekebwa, abasinga Kayihura be yaziwa tebatendekebwangako.

Bano olwakutte Kayihura kigambibwa nti baatidde era abamu baazizzizzaayo ng’embeera tennaba kuboonoonekera ne bazisuulira ba DPC mu bitundu gye babeera. Olukalala lw’abantu Kayihura be yawa emmundu lunene ddala wadde amannya gasirikiddwa. Abamu bakyagumye nazo, bakyagaanyi okuzizzaayo.

ABAKUUMI BA KAYIHURA BAYITIDDWA BEEYANJULE

Ekitongole ky’amagye ekikessi ekya CIM, kiyise abamu ku babadde abakuumi ba Gen. Kayihura b’amaze nabo ebbanga eddene okubaako kye bababuuza ku misango egy’enjawulo egisuubirwa okumuggulwako okulaba oba balina kye bamanyi.

Ensonda mu magye zaategeezezza nti abamu ku bakuumi ba Kayihura bano basuubirwa okuba nga balina bingi bye bamanyi ebiyinza okuyambako ennyo mu kunoonyereza ku bujulizi bwe baagala kubanga bamubadde kumpi nnyo okumala ebbanga.

Era nga kisuubirwa nti abadde abeesiga nnyo era nga n’ebiseera ebimu kirowoozebwa okubeera nga babadde bamanyako ku bigenda mu maaso. Bano baakuyambako n’okulambika ku bikolwa bye basuubira Gen. Kayihura by’abadde akola omuli okukwata obubi ofi isi ye.

Okunnyonnyola bye bamanyi ku ba Kitatta aba 2010, biki bye babadde bakola ne Kayihura ne bye bakola ng’abadde abasisinkanye. Kuno baakugattako ne b’ani be bamanyi ku baserikale ababadde bakolagana ne ba SSP/Nixson Agasirwe abaawambanga Abanyarwanda ne babazzaayo e Rwanda ku kifuba, ne battibwa.

Era bakifeesi ababadde babba n’okutta abantu omuli n’okukuba abantu obutayimbwa lwaki byalekera awo okuva Kitatta ne banne aba 2010 lwe baakwatibwa. Muka Kayihura alwana kuggya bba mu kaduukulu Munnamagye agenda okuwozesa Kayihura alondeddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...