TOP
  • Home
  • Agawano
  • Muloope Abapoliisi abeenyigira mu bumenyi bw'amateeka - Museveni

Muloope Abapoliisi abeenyigira mu bumenyi bw'amateeka - Museveni

Added 20th June 2018

PULEZIDENTI Museveni agambye nti obumu ku bumenyi bw’amateeka obugenda maaso mu ggwanga bwenyigiddwamu n’abamu ku bantu abali mu bitongole ebikuumaddembe.

 Museveni ng'ayogera eri Palamenti. Ebifaananyi bya MOSES NSUBUGA

Museveni ng'ayogera eri Palamenti. Ebifaananyi bya MOSES NSUBUGA

Awabudde  abantu ba bulijjo okutunulanga enkaliririza okulaba n’okuloopa ku poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala abantu bonna be bateebereza okuba abamenyi b’amateeka n’agamba nti enkolagana ng’eno ejja kuyamba okukendeeza obumenyi bw’amateeka.

Museveni abadde ayogera eri Palamenti ku mbeera y’obutebenkevu n’alambulula amakubo agawerako gavumenti g’egenda okuyitamu okubirwanyisa.

Agambye nti obugajjavu mu poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe wamu n’abamu ku bamenyi b’amateeka okukolagana n’ab'ebyokwerinda kye kimu ku bizibu ebivuddeko ebikolwa by’okumenya amateeka okweyongera.

Kwe kumenya amakubo gavumenti  g'egenda  okukwata  okulwanyisa ettemu n’obumenyi bw’amateeka nga ge gano:

Ebinkumu by’abantu bonna abakozesa emmundu mu ggwanga  bigenda kubaggyibwako bissibwe mu kompyuta  bwe wanaabangawo obutemu n’obumenyi bw’amateeka obulala gavumenti ejja kusobola okumanya ‘’nnyini mmundu’ eyakozeseddwa mu butemu oba obubbi.

Kino agambye nti kigenda kumalawo abakuumaddembe abayinza okukemebwa okwazika emmundu ne zikozesebwa ebikyamu.

-Bannyini bidduka bagenda kulagirwa okugula nnamba z’emmottoka ne pikikpiki empya ezikolera ku kompyuta ng’abobuyinza basobola okulondoola ebidduka  n’okulaba buli we ziba zigenze nga kijja kuba kyangu okuzuula eyatambuza abamenya amateeka.

Yazzeemu okutegeeza nga gavumenti bwe yaweze eky’abavuzi ba dobaboda okwambala ebikokokolo n’ebigoye ebibikka emitwe gyabwe. N’agamba nti poliisi buli muntu gw’enaalaba abyambadde erina okumubuuza akana n’akataano.

Ensonga z’okugula kamera n’okuzissa ku nguudo okuketta abamenya amateeka nayo agambye nti gavumenti egitadde ku mwanjo. Era nga ekifo ekikebera endaga butonde nakyo kigenda kwongerwamu amaanyi kisobola okuzuula ebikwata ku bantu ababa beenyigidde mu kumenya amateeka okugeza okukebera enkwanso z’abakwata abakazi, okusobola okukebera entuuyo , amalusu n’omusaayi gw’abateeberezebwa okwenyigira mu kumenya amateeka.

Museveni ng'alaga ababaka engeri abatemu abakozesa huudu (soma ebikoofiira) gye beebikkiriramu ku bodaboda ne bayita ku bantu

Agambye nti kino kigenda kugattibwako okulwanyisa abakozesa ebyempuliziganya eby’omulembe ku kompyuta, abeeyambisa emikutu gya 'Social Media' okuli Facebook, Twitter ne Whats App okumenya amateeka nga bawandiikako ebintu ebisasamaza abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...