TOP

Bobi Wine yeewuunyizza Besigye

Added 21st June 2018

OMUBAKA wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) yasabye abantu ba munisipaali y’e Bugiri bwe yabadde azze okunoonyeza Asumani Basalirwa akalulu okulonda abantu ab’embavu.

 Bobi Wine (ku ddyo) mu kkampeyini za Basalirwa (ku kkono)

Bobi Wine (ku ddyo) mu kkampeyini za Basalirwa (ku kkono)

OMUBAKA wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) yasabye abantu ba munisipaali y’e Bugiri bwe yabadde azze okunoonyeza Asumani Basalirwa akalulu okulonda abantu ab’embavu.

Bobi yagambye nti Palamenti we yatuuka tekyayagala kibiina kyabyabufuzi oba ddiini wabula eyagala omuntu ow’a maanyi asobola okwogera ng’ate mwesimbu ku nsonga zonna.

Yewuunyizza Dr. Kizza Besigye ne banne okubaawukanako olw’ekibiina ngate babadde bonna ne Basalirwa nga kwaali mu lutalo lw’e Jinja ne Rukungiri gye baava n’obuwanguzi olw’okwegatta.

Yagumizza ab’e Bugiri nti bwe kiri wano bwe kyali n’e Kyadondo baayawukana naye yawangula.

Ye Basalirwa bwe yabadde ayogera mu lukuhhaana lwe yakubye e Ndifakulya mu kibuga Bugiri, yasoose kusaba bawagizi be obutavuma muntu yenna yadde okubakosa kuba ye Munnamateeka.

Basalirwa avuganya n’abalala 4 okuli John Frances Okecho (NRM), Eunice Namatende (FDC) ne Hajji Siraji Lyavala (indep).

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...