TOP

Agenda okuwozesa Kayihura ayogedde

Added 21st June 2018

MUNNAMAGYE Lt. Gen. Andrew Gutti ayazzeemu okulondebwa okukulira kkooti y’amagye agambye nti talinaamu nsisi yonna okuwozesa Gen. Kale Kayihura wadde ng’amusingako eddaala limu kubanga etteeka lya UPDF likikkiriza.

 Lt. Gen. Gutti

Lt. Gen. Gutti

Bya JACKIE NAMBOGGA NE MARGARET ZALWANGO

“Etteeka likirambika bulungi, era Gen. Kayihura bw’anaaba aleeteddwa mu maaso gange, nsobola bulungi okumuwozesa newankubadde ansinga eddaala,” Lt. Gen. Gutti bwe yategeezezza Bukedde eggulo ku ssimu n’agattako nti ne bannamateeka ab’enjuyi zonna bakimanyi bulungi.

Lt. Gen. Gutti yazzeemu okulondebwa nga ssentebe wa kkooti y’amagye era ensonda mu magye zaategeezezza nti enteekateeka zikolebwa okutwala Gen. Kale Kayihura asimbibwa mu maaso ga kkooti ng’ekubirizibwa Gutti, okusomerwa emisango egyamukwasizza.

Gutti yalondeddwa ne ttiimu ya bannamagye abalala 14 ab’amadaala ag’enjawulo okuli; ba Major, Lieutenant Colonel, Captain ne ba Lieutenant okutuula ku kkooti y’amagye eyitibwa General Court Martial etuula e Makindye.

Omwogezi wa UPDF Brig. Richard Karemire yategeezezza eggulo nti, akakiiko k’amagye ak’oku ntikko nga kakubirizibwa Pulezidenti Museveni, kaasazzeewo okwongera Lt. Gen Gutti ekisanja ne ttiimu ye ey’abajaasi 14 bwe babadde batuula ku kkooti eyo.

Ng’oggyeeko okuwozesa Gen. Kayihura, Gutti asuubirwa okumaliriza emisango gy’abadde yatandikako edda mu myaka esatu gy’abadde ssentebe wa kkooti y’amagye okuva mu May 2016 lwe yalondebwa okudda mu bigere bya Maj. Gen. Levi Karuhanga eyafa mu April 2016.

Mu February 2016 Maj. Gen Karuhanga yawozesa Gen. David Sejusa (Tinyefunza) wadde nga Sejusa yali asinga Karuhanga amadaala abiri.

Kino kiggyawo okukoonagana okubaddewo nga bannamagye abamu bataputa etteeka mu ngeri etegeeza nti omuntu okukuwozesa alina okuba ku ddaala lyerimu oba waggulu w’oyo gw’awozesa.

Lt. Gen. Gutti alina emisango egy’amaanyi gy’abadde awulira egirimu abanene era mu kisanja kino ekipya gyegimu ku gy’asuubirwa okuwunzika. Mulimu omusango gwa Abdallah Kitatta ne banne 12 nga bonna ba mmemba mu kibinja kya Bodaboda 2010.

Bano bavunaanibwa kusangibwa n’emmundu, amasasi ssaako ebyambalo by’amagye saako ebijambiya n’ebissi ebirala.

Okuwulira omusango guno kwakoma ku mujulizi omu (mujaasi akola mu CMI) eyaaleetebwa omwezi oguwedde era ono kkooti yayabuka omujulizi ono tamazeeyo bujulizi bwe era gwe basuubira okutandikirako nga kkooti ezzeemu.

Kitatta ne banne baalina okudda ku ntandikwa y’omwezi guno, wabula ne bategeezebwa nti ekisanja kya kkooti kyaggwaako era ne bataleetebwa nga balinze lwe kinazzibwa obuggya.

Omusango omulala gwa boofiisa ba poliisi okuli: SSP Nixon Agasirwe, ACP Joel Aguma, Benon Atwebembeire, Sgt. Abel Tumukunde, Faisal Katende, Amon Kwarisima n’abalala.

Bano bavunaanibwa okwekobaana ne bawaayo eri Gavumenti ya Rwanda abantu abaali banoonya obubudamo era abamu battibwa nga batuusiddwa e Rwanda.

Abalala b’ajja okugenda mu maaso n’okuwozesa kuliko; eyali omubaka wa Palamenti Tonny Kipoi Nsubuga avunaanibwa n’abajaasi okuli Sgt. Yunus Lemeriga, Cpl. Rogers Mweru, Sgt. Adams Mawa, Sgt. Albino Okeng ne Pte Dodola Ijosiga.

Mu misango emirala egitaggwanga nga gyali mu maaso ge kuliko n’oguvunaanibwa omubaka wa Nakawa mu Palamenti Michael Kabaziguruka.

Oludda oluwaabi lugamba nti gwazzibwa wakati wa January ne June 2016 mu bitundu bya Kampala, Wakiso, ne Luweero ng’abajaasi beekobaana okulumba enkambi z’amagye okwali ey’e Makindye ne Bombo okubba ebyokulwanyisa n’ekigendrerwa ekyokuvuunika Gavumenti ya Pulezidenti Museveni.

N’okutuusa kati oludda oluwaabi teruleetanga mujulizi yenna mu musango guno.

Omusango gwasigaddeko abantu bataano okuli Kabaziguruka, omuserikale wa poliisi AIP Ferdinand Obulejo, Capt. Andrew Ojaa, Rtd Pte. Fredrick Namara ne Pte Christopher Omony oluvannyuma lw’abantu abalala bataano abaali ku musango gwe gumu ogw’okulya mu nsi olukwe okukkiriza emisango era ne bayimbulwa nga basonyiyiddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...