TOP
  • Home
  • Agookya
  • Bazudde ebipya ku ngeri abaatemula Kaweesi gye baddukamu: Pulaani yalimu emmotoka gye baakwekamu pikipiki

Bazudde ebipya ku ngeri abaatemula Kaweesi gye baddukamu: Pulaani yalimu emmotoka gye baakwekamu pikipiki

Added 21st June 2018

ABEEBYOKWERINDA bazudde engeri abatemu abatta Andrew Felix Kaweesi gye badduka amangu mu kitundu ne babulawo abatuuze ne balemwa n’okumanya we bakutte.

 Omugenzi Kaweesi

Omugenzi Kaweesi

ABEEBYOKWERINDA bazudde engeri abatemu abatta Andrew Felix Kaweesi gye badduka amangu mu kitundu ne babulawo abatuuze ne balemwa n’okumanya we bakutte.

Bino babizudde oluvannyuma lw’okukunya abamu ku baakwatiddwa mu by’okutta Kaweesi.

PULAANI YALIMU EMMOTOKA GYE BAAKWEKAMU PIKIPIKI

Abaaluka olukwe baasooka kutegeka kimotoka eky’ekika kya Isuzu “Box Body” ekyasimba mu kkirommita nga bbiri okuva ku maka ga Kaweesi.

Ekimotoka kino kyali kya langi ya ‘siriva’ era abaavuga pikipiki baasooka kulambula kifo ekimotoka kino we kyali kisimbye ne bakuba ne pulaani y’oluguudo we banaayita okukituukako nga ‘misoni’ ewedde.

Abaakwatiddwa bagamba nti tebaakwata nnamba ya kimotoka kino wabula abamu baabadde bagamba nti bajjukira ng’ennamba ezaaliko tezaali za Uganda.

Kiteeberezebwa nti ennamba yali njingirire era bambega bateebereza nti ennamba ezaassibwako zaali za Congo.

Bwe baamala okutta Kaweesi ne banne, pikipiki ebbiri okwali abaamukuba amasasi baazivuga boolekedde ekifo awaali wasimbye ekimotoka.

Ddereeva w’ekimotoka bwe yawulira ng’amasasi gavuga n’amanya nti ‘misoni ekoleddwa, n’aggulawo ekimotoka n’amadaala gaakyo n’agassa wansi kubanga ‘misoni’ yali agimanyi bulungi.

Abaali ku pikipiki bwe baazituusa ku kimotoka, baaziyingiza butereevu nga bazivuga era ddereeva n’asibawo ekimotoka n’asimbula n’avuga.

Kigambibwa nti ekimotoka kyasibira mu kimu ku bikomera bya boofiisa ba poliisi era wakati mu kuvuga, abaali munda baali beggyamu ebijaketi n’obukookolo obwali ku maaso era baafuluma ekimotoka nga bali mu kikomera nga n’ebizibiti byonna babirese mu kimotoka.

Ofiisa nnyini kikomera eyali akoze ku by’okuleeta ekimotoka y’amanyi ebizibiti ne pikipiki ezaakozesebwa gye byateekebwa.

Ebizibiti ebyo, kati aba ISO bye bakyagezaako okukozesa wabula ensonda zaategeezezza nti emmundu ssatu ezigambibwa nti ze zaakozesebwa baazikutte era balina essuubi okukwata n’ebizibiti ebirala.

Kigambibwa nti kyakolwa mu bugenderevu abapoliisi okukwata abantu abangi mu by’okutta Kaweesi era n’ekwatiramu ne pikipiki ekika kya Bajaj Boxer ez’abantu abo era ezo ze yalaga ng’ebizibiti nti ze zaakozesebwa okutambuza abatta Kaweesi era ne zitwalibwa ku poliisi ya Kira Road nga bataddeko nnamba y’omusango gw’okutta Kaweesi.

ISO egamba nti bino byali bya kiguumaaza kubanga pikipiki ezaakozesebwa zaali za maanyi nnyo era ssi za bulijjo.

Kaweesi yattibwa nga March 17, 2017 ku makya nga yaakava ewuwe e Kulambiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....