TOP
  • Home
  • Masaka
  • Kagina atongozza okuzimba oluguudo lw'e Masaka - Lusakalwammese

Kagina atongozza okuzimba oluguudo lw'e Masaka - Lusakalwammese

Added 21st June 2018

Akulira ekitongole kya UNRA ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga, Allen Kagina atongozza okukola oluguudo Masaka - Kidda - Lusakalwammese nga luliko obuwanvu bwa kiromita 32.

 Akulira UNRA, Allen Kgina ng'ayogera mu kutongoza okukola oluguudo

Akulira UNRA, Allen Kgina ng'ayogera mu kutongoza okukola oluguudo

Akulira ekitongole kya UNRA ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga, Allen Kagina atongozza okukola oluguudo Masaka - Kidda - Lusakalwamese nga luliko obuwanvu bwa kiromita 32.

Kagina asinzidde mu Kidda mu ggombolola y'e Buwunga e Masaka n'asaba abatuuze okuteekawo obukiiko obunaalabirira oluguudo luno luleme kwonooneka mangu.

Kagina ategeezezza nti enguudo bwezitabaako bukiiko buzirabirira kiwa baddereeva ekyagaanya okutikka obubindo ne batafaayo nti babeera bazoonoona.

Agumizza Bannabuddu nti oluguudo lw'e Bukakata bamaze okufuna ensimbi okuva mu Bawarabu era nalwo luli mu nteekateeka z'okukolebwa.

Oluguudo olutongozeddwa lwakukolebwa kampuni ya Azu ng'ekulirwa Richard Waiswa.

Ono bamulabudde okukola n'obwegendereza kuba akyali mu kugezesebwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...