TOP

Irene Namatovu amenye likodi ku Obligato

Added 23rd June 2018

Irene Namatovu amenye likodi ku Obligato

 Irene Namtovu ne bba Geofrey Lutaaya nga baanyusa abantu mu concert ya Baby Gal nsambira nnyuma eggulo ku club Obligato

Irene Namtovu ne bba Geofrey Lutaaya nga baanyusa abantu mu concert ya Baby Gal nsambira nnyuma eggulo ku club Obligato

IRENE Namatovu akubye Club Obligatto n’amenyawo likodi ya Chris Evans eya 2012 bwe baagobye abantu mu kifo ekyo nga kijjudde olwa konsati ya Baby Gal mu Nsambira nyuma nga jjanzi ebaddewo mu kiro ekikeeseza olwaleero.

Namatovu yatandise okuyimba ku ssaawa nnya ez’ekiro nga yatandise n’oluyimba lwa Mukama webale bwe yabadde mu kiteeteeyi ekya maruuni ekimasamasa nga kiwanvu nga n’okumutega kimutega era olwagyeyo omutwe abantu ne bamulabako enduulu n’etandikirawo.

Olwo abayimbi abato mu bbandi ye ne bba, Geoffrey Lutaaya baabadde baatandise dda okuyimba okuva ku ssaawa bbiri ez’ekiro era nga nabo baasanyusizza abantu abaabafuuye ssente na ddala okuva eri Seeka Umar omulombi w’edduwa e Nansana n’abalala.

Ku ssaawa ttaano, Lutaaya yegasse ku Namatovu ne bayimba Baby gal wano abantu we baagwiridde eddalu kyokka ng’ebyembi tebalina bwe bazina olw’ekifo okukwatirira abantu abangi.

Lutaaya yasigadde ku sitegi Namatovu n’addayo okukyusa engoye era yakomeddewo mu kiteeteeyi ekya kyenvu nga kimpi olwo ate ekibbiitu ne kisitula buto.

Yavudde ku sitegi David Lutalo, B2C, Rema Namakula n’abayimbi abalala ne bayimba olwo Namatovu n’akomawo ku ssaawa ttaano n’ekitundu n’ayimba Kuzaalakujaagaana n’azzaako Nsambiranyuma ekintu ne bakiggala ku ssaawa mukaaga gwenyini.

Mu April wa 2012, Chris Evans yategeka konsati ku lunaku lwe lumu ne Jose Chameleone eyali e Lugogo ekyaletera Chris okukaabirira abantu nti Chameleone w’amaanyi ate amutaddeko ekivvulu olwo abantu ne beyiwa mu bivvulu byombi era ku Obligatto baabagoba na bugobi era likodi eyo ebadde tevangawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...