TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyabadde atambuza enjaga mu lubuto poliisi emukutte ng'agifuluma

Eyabadde atambuza enjaga mu lubuto poliisi emukutte ng'agifuluma

Added 24th June 2018

Eyabadde atambuza enjaga mu lubuto poliisi emukutte ng'agifuluma

 Omuserikale ng’atwala omukazi Rodriguez (ku kkono) mu kaduukulu k’oku poliisi y’oku kisaawe e Ntebe.

Omuserikale ng’atwala omukazi Rodriguez (ku kkono) mu kaduukulu k’oku poliisi y’oku kisaawe e Ntebe.

POLIISI ekutte omukazi enzaalwa y’e Venezuela eyamize enjaga n’agezaako okugiyingiza mu ggwanga abeeko abantu b’agitwalira e Kibuli. Rodriguez Fagundezi Albelys Doralys 24, eyakwatiddwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe n’enjaga gye yabadde amize ebalirirwamu obukadde 486.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Rodriguez yasimbula okuva mu kibuga Sau Paulo ekya Brazil ng’alinnye ennyonyi ya Ethiopian Airlines wabula poliisi n’emufunako amawulire nti yandiba n’enjaga gy’akukusa.

Yategeezezza nti abasirikale bwe baamulabye ne bamukwata. Yagambye nti bwe yatuuse ku kisaawe ky’ennyonyi e Nairobi n’afuna ennyonyi endala emuleeta ku e Ntebe nga yatuuseeyo nga June 18, 2018.

Agamba nti abaserikale bwe baayazizza ensawo ye ng’eraga nti talina njaga kwe kumutwala mu byuma ne bamwekebejja ne basanga ng’enjaga yagimize eri mu lubuto. Yagambye nti abaserikale baamutadde mu kasenge n’atandika okugifuluma nga yafulumizza obutundu bw’enjaga obwabadde buzingiddwa (Pallets) 114 ng’ezitowa gulamuzi 1660 nga kino yakikoledde ennaku 4 okuva nga June 18 okutuuka nga June 21.

Wabula Rodriguez yategeezezza nti yava mu Venezuela okugenda okunoonya emirimu mu Brazil ng’eno gye yasanga omusajja gw’amanyiiko erya Antonio eyamutwala n’amugglira mu kiyumba mu kibuga Sau Paulo n’amulagira okumira enjaga oluvannyuma n’amuwerekera mu kisaawe ky’ennyonyi.

Yagambye nti Antonio yali amusuubizza obukadde 7 ez’okugitambuza agituuse eri omuntu gwe yamugamba nti waakumusisinkana ku Alcom Hotel e Kibuli wabula teyamuwa mannya ge. Owoyesigyire yagambye nti Rodriguez yagguddwako emisango okuli ogw’okukukusa enjaga saako n’okusangibwa n’enjaga egiri ku fayiro CRB 142/2018 ng’akuumirwa ku poliisi y’oku kisaawe e Ntebe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...