TOP

Mukyala Paasita eyeewamba aggaliddwa

Added 24th June 2018

Mukyala Paasita eyeewamba aggaliddwa

 Miriam Kusuubira

Miriam Kusuubira

MUKYALA wa paasita eyeewamba n’akanda abantu be obukadde 50 asimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa emisango esatu.

Miriam Kusuubira Nabbosa 45, mukyala w’omusumba Shadrack Kusuubira owa kkanisa ya Noah Holliness Church e Masajja mu Munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi, Christine Nantege owa kkooti y’e Makindye n’asomerwa emisango okuli okwekobaana okuzza omusango, okuwa poliisi amawulire ag’obulimba n’okukozesa olukujjukujju n’ekigendererwa eky’okufera ssente ku bantu. Wabula Nabbosa agyegaanyi.

Ono avunaanibwa n’eyali muganzi we gye yali addukidde, Angello Ssembooze akyanoonyezebwa.

Kigambibwa nti nga June 6, omwaka guno Nabbosa yava mu maka ga bba Kusuubira e Masajja ng’alina obukadde 20 ez’okugula ettaka kyokka teyaddamu kulabika ng’oluvannyuma abantu be baafuna essimu nti yali awambiddwa.

Bba Kusuubirwa yategeeza poliisi ne kizuulwa nti essimu eyali ekozesebwa yali mu bitundu by’e Ntebe Kawuku.

Byaliwo wakati wa June 6 ne June 11 ng’abaali bagambibwa okumuwamba basaba obukadde 50 ssaako emitwalo 50 buli lunaku ez’okumuliisa. Wabula kyazuulwa nti Nabbosa yali yeewambye n’afumbirwa. Yasindikiddwa eokutuusa nga July 26, 2018

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...