TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga w'omukampala awunze; Atutte abaana ku musaayi nga 5 sibabe!

Omugagga w'omukampala awunze; Atutte abaana ku musaayi nga 5 sibabe!

Added 24th June 2018

Omugagga w'omukampala awunze; Atutte abaana ku musaayi nga 5 sibabe!

 Festo Kasajja

Festo Kasajja

OMWANA gw’oyagala ennyo, oboolyawo nga gw’oteekateeka okuba omusika wo watya nga ssi wuwo? Wali okirowoozezzaako nti oyinza okuba ng’oyolera musajja mulala? Ensangi zino bangi bajjumbidde okutwala abaana baabwe okubakebera endaga butonde (DNA) era bangi kibabuukiddeko eyo nga bakabatemye nti ddala abaana abamu si be babazaala wabula bakyala baabwe baali baabaasiba olw’ensonga ezitali zimu.

Festo Kasajja y’omu ku basajja abeekengera bakyala be nasalawo abatwale babakebere omusaayi era ebyavuddeyo byamuwuniikirizzaOMUGAGGA w’omu Kampala, Festo Kasajja owa Kasajja and Sons Emporium yayatiikirira nnyo mu myaka gye 80 ne 90 olw’okukwatanga ennyimba z’abayimbi n’azissa ku ntambi n’okuzigula n’azeetundira.

Alina ebizimbe ebiwera mu kibuga naddala mu Kisenyi. Kasajja aludde ng’abuusabuusa abamu ku baana be ng’omutima ogumu gumugamba nti ku baana mwandibeeramu b’atazaala olw’emize gy’abamu ku baana naddala b’azadde ng’afunye ku ssente. Yasalawo bonna okubayoola n’abakuba ku kyuma gye bakeberera omusaayi era ebyavuddeyo byamukubye wala nga n’okutuusa kati anyeenya mutwe ng’embuzi entenda enkuba.

Ssaalongo Mayanja n’abamu ku baana be.

 

KASAJJA ATTOTTOLA EBYAMUTUUSEEKO “Omutima bwe gwatandika okunnumiriza nti mu baana mwandibeeramu be sizaala, nasalawo okuyita abakazi be nabazaalamu. Kyokka bwe nabakunya ennyo ηηenda okulaba ng’abamu bye boogera tebikwatagana. Abaana bange ba mijiji ebiri okuli abakulu abali mu myaka gy’ekivubuka nga mu kiseera kino bawezezza emyaka 30 ne 40 awamu n’abato. Gattako n’omujiji omulala abakyali abato abali wansi w’emyaka 10.

Bwe nawulira ebyatuuka ku baana ba munnamawulire Mulindwa Muwonge ne ηηamba nti nze sijja kulinda kuva mu nsi okubakebeza. Nayita abaana bonna ne bannyaabwe ne mbabuulira obuzibu bwe ntubiddemu omuli okuba nga mbabuusabuusa. Twakkiriziganya ne mbatwala ku musaayi bonna tumalewo okubuusabuusa. Ebyavudde mu musaayi byankubye wala anti ku baana 16 be mbadde nnina nasigazza 11. Abataano ebyuma byabawandudde nga si nze kitaabwe.

Okufaanana nga bwe nali ndowooza abaana abato be baabaddeko obuzibu kuba abakulu nabazaala mu mukazi omu. Kyokka bano be nazaalanga mu bakazi ab’enjawulo be baabaddeko obuzibu era nga nalabanga bannyaabwe nga babuukabuuka. Ekimu ku kyannumyemu abamu ku baana abaawanduddwa mbadde mbaagala nnyo nga mikwano gyange. Kyokka olw’okuba tebabadde musaayi gwange, kirungi bagende mu bika ebituufu gye bagwa.

OKULABULA ABASAJJA Basajja bannange abakyatambula mulina okwegendereza abakyala abeekozesa naddala abatambuza ebyamaguzi, abakola mu butale n’abalina bye batembeeya. Bw’oba omanyi nti wazaala mu mukazi ow’ekika kino yanguwa kebeze abaana.

Ekizibu ky’abakazi abasuubuzi ekigendererwa kyabwe kiba kya kunoonya ssente era bw’alaba amuwa ez’amangu gw’apaala naye kuba ze zibakeeza okunoonya. Eky’okuyiga kye nafunyeemu sigenda kuddamu kulindiriza era omwana oluba okumuzaala nga mmutwalirawo ku musaayi. Abasajja abalina ku ssente be basinga okuba ku buzibu kuba abakazi babeera babanoonyaako ssente.

Ekirala kyannyambye n’okutegekera obulungi abaana bange kuba tomanya oyinza okuwa atali wuwo kyokka era mu maaso ne bamutwala. Omusaayi omukyamu okuyingira mu famire kye kivuddeko n’ebikolobero okweyongera ng’abaana abatemula bazadde baabwe.

EMBEERA Y’ABAKYALA Ekyanneewuunyisizza abakazi olwabategeezezza ebivudde mu musaayi tebeekanze nga kiraga nti babadde bansiba abaana mu bugenderevu. Waliwo eyalabise nga nninga amuwewudde omugugu nga bulijjo talina w’akiηηambira. Waliwo omusajja gwe nabadde nteebereza okubeera taata w’omwana omu, era kyanneewuunyisizza okuba nga gwe baamuwadde.

Buli mwana baamufunidde dda kitaawe omutuufu. Nnawaliriziddwa n’okukyusa ekiraamo ne nzigyamu abatali baana bange. Ebyobugagga byonna nabitadde mu kkampuni ng’abaana bonna balinamu emigabo ne bannyaabwe.

Omusika alina kusikira musaayi era omwana omu bw’afa, omugabo gwe gugenda mu baana b’aba alese. Nze wadde abamu baagenze naye ndi yadde yadde.

Waliwo omugagga omulala mu Kampala eyakebezza abaana be 70, kyokka abaana 12 bokka be baazuuliddwa nga babe abalala 50 ekyuma kyabawandudde”.SSAALONGO Abubaker Mayanja (40) yawunga bwe yafuna omukuku gw’ebbaluwa ng’ewandiikiddwa musajja munne ng’amubanja omwana.

Mu bbaluwa yateekamu n’ekifaananyi ng’ali ne mukazi we n’amutegeeza nga bwaludde ng’abanja omwana we. Mayanja mutuuze w’e Nakwero A, mu minisipaali y’e Kira mu disitulikiti ‘e Wakiso era nga musaveya omutendeke. Mukyala we yamulinamu abaana babiri, oluvannyuma omusiguze n’atwalako omu. “Omuvubuka eyali omuvuzi wa booda ayitibwa Mutyaba emyaka mukaaga emabega yampeereza ebbaluwa ng’antegeeza nti mukyala wange Sarah Nan- yo watya nga ssi wuwo? Ssaalongo ow’abaana 7 asigazzaako 5 ABALALA subuga yali yansiba omwana gwe natuuma amannya ga Shamiyah Namutebi.

OMUSIGUZE AMPANDIIKIRA EBBALUWA Ebbaluwa yagimpeera ku kisaawe nga ndaba mupiira e Nakwero era okuva ku kisaawe bankwatirira bukwatirizi nga mpunze. Mutyaba yali muganzi wa Nansubuga era nga yali yamuzaalamu omwana nga sinnaba kumuwasa. Omwana gwe yali ammanja ye wookubiri ng’alemerako nti wadde mwavu alina okununula omusaayi gwe.

Mu bbaluwa, yateekamu n’ebifaananyi nga bali ne mukyala wange era n’antegeeza nti Nansubuga yali atucanga babiri era ng’olumu yamutwaliranga omwana n’amulabako n’oluvannyuma ne bakomawo ewange. Ebifaananyi byankuba wala kuba byali biraga nti Nansubuga bali mu mukwano omuzibu nga bonna beeriraanye bulala. N’omwana wange gw’abanja baalinga naye, kyokka owange omuto gw’atazaala era ng’ebifaananyi alabika nga tebamuliiko. Kino kyantiisa ne mpalirizibwa okutwala abaana bange omusanvu mu musaayi okuzuula ekituufu.

Ebyavaamu bigenda okudda ng’ababiri ku baana bawanduddwa okuli; Shafi k Nsubuga (9) ne Shamiyah Namutebi (12) Mutyaba gwe yali akaayanira. Kyokka ekiseera kye namala ne Nansubuga yali muntu wa kunoba buli kiseera ate nga bw’amala n’akomawo. Kirabika bwe yavanga ewange ng’abeera ku ddya eddala ewa Mutyaba. Omwana gwe baatwala nali mmuweerera n’okumuwa ebyetaago ebirala.

Omusawo ng’aggya amalusu ku mukyala okugakozesa mu kukebera endaga butonde.

 

OMWANA OWOOKUBIRI BAMUTWALA Namakula gwe nazaalamu Shafi k Nsubuga, naye gwe baatutte. Nasisinkana nnyina ng’asoma siniya ne mmuganza era ekyaddirira kwe kuηηamba nti ali lubuto.

Yansuulira omwana nga wa myezi mukaaga era mukyala wange n’amukuza okutuusa ku myaka mwenda we baamutwalidde. Olwamukebedde omusaayi ne tumuzuula nti si wange bangi baamusaaliddwa mu kika kubanga abadde talina buzibu nga muwulize era ng’atweyagaza Ssaalongo Mayanja n’abamu ku baana be. nga famire. Naye tetulina kyakukola alina okugenda mu kika ekituufu.

Mukyala wange wadde nga yali asazeewo tusigaze Nsubuga ng’amulabirira, kyokka nakiraba nga bwe naakikola nnyina tajja kunoonya kitaawe omutuufu era bwatyo ne mmukwasa nnyina. Kye nakola nga nfunye ebivudde mu musaayi nagenda ku poliisi e Kasangati ne bakyala bange ne mbakwasa ebivudde mu musaayi”. Ssaalongo Mayanja bwannyonnyola ebibye. Annet Nakibuuka, maama wa Mayanja yagambye nti kyabakuba wala okuzuula nti omwana teyali wa musaayi gwabwe.

Baali tebalowooza nti Namakula asobola okukola ekikolwa ng’ekyo. Kyokka ate oluvannyuma baasanyuse omwana okuba ng’agenda kufuna ekika kye ekituufu.DR. Nelson Mwesige owa HEALTHVIBER Diagnostic Centre e Wandegeya yagambye nti tekikyetaagisa muntu kuzaala mwana okumukebeza kuba basobola okukebera olubuto ne bamanya kitaawe. Olubuto kasita lubeera nga luwezezza emyezi ebiri n’ekitundu babeera basobola bulungi okulukebera. Okukebera kuno kumalawo 850,000/- era nga mu bbanga lya mwezi gumu gwokka taata w’omwana abeera ategeerekese.

DNA KYE KI? Okukebera endabutonde ekimanyiddwa ennyo nga DNA kikolebwa nga beekebejja obutaffaali obuzimba omubiri gw’omuntu kuba buli muntu abeera n’obutaffaali bwa njawulo okuggyako abalongo abaakulira mu kisawo ekimu. Mu kukebera obutonde basobola okukebera ebintu eby’enjawulo ng’omusaayi, amalusu, entuuyo, enviiri n’ekitundu ky’omubiri kyonna ekirala.

Mwesige yagambye nti ebyuma ebikebera endaga butonde bya bbeeyi era ye nsonga lwaki bitono mu ggwanga. Ebyuma ebisinga ebiriwo bakolagana butereevu n’amalwaliro amanene ebweru we ggwanga ababa bannyini byo. Yawadde eky’okulabirako nti Gavumenti yasaasaanya bbiriyooni 2 n’obukadde 900 ng’eddaabiriza ekyuma kya Goverment Analytical Labaratory (GAL) e Wandegeya.

Ebyuma bino bibeera mu mitendera era tekibeera kyuma kimu. Omuntu gwe bakebedde kimutwalira ebbanga eriri wakati w’omwezi ogumu n’ebiri okufuna ebivudde mu kukebera. Bwe baba bakebera waliwo lwe kiyinza okwetaagisa okusimula amagumba g’omugenzi naddala ssinga kizuulibwa ng’omugenzi talina bamuzaala wadde baganda be bwe bagatta kitaabwe ne nnyaabwe. Abantu abakebera DNA mu kiseera kino beeyongedde nga kivudde ku mbeera ez’enjawulo omuli okubeera ng’obuvunaanyizibwa bw’okukuza omwana bweyongedde okukaluba.

Mwesige yasabye Gavumenti efube okulaba nga buli mwana bamuggyako DNA nga yaakazaalibwa kuba tekibeera kyabuseere ate nga kiyambako ne mu bintu ng’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka. Ku buli baana 10 be bakebera nga babuusibwabuusibwa babiri batera okusangibwa nga si ba waka. Abantu abali mu myaka gy’ekivubuka naddala abali wansi w’emyaka 40 be basinga okutwala abaana okubakebera endagabutonde.

Dr. Freddie Bwanga owa MBA Clinical Laboratories esangibwa ku luguudo lw’e Nakasero Road eyakebera abaana b’eyali munnamawulire Mulindwa Muwonge yategeezezza nti ekkubo lyokka erisobola okuyamba okugonjoola enkaayana mu famire n’abaana , kwekebeza musaayi. Mu kukebera omusaayi bakwatagana n’abakugu okuva mu mawanga agaakula ne kibayamba obutabeera na kubuusabuusa ku muntu oba ekintu kye baba bakebedde.

EBBEEYI Y’OKUKEBEZA ABAANA Okukebera taata n’omwana kimalawo 500,000/- buli omu bamukeberera 250,000/-. Ssinga obeera ogenda kukeberwa nga mulagiddwa kkooti ssente ezisasulwa zibeera 650,000/- olw’obwangu obulina okukozesebwa okufulumya ebivudde mu musaayi. Okusimula amagumba g’abafu okuzuula obuzaale kwa ddoola 2,300 nga zisukka mu bukadde 8,000,000/-

EBINTU EBIRALA BYE BAKEBERA ENDAGA BUTONDE Basobola okukebera okuzuula taata oba maama w’omwana omutuufu (Paternity DNA) Bakebera abantu ssinga wabeerawo ekiragiro kya kkooti (Legal DNA) Bakebera ng’omuntu abadde agenda mu nsi endala (Immigration DNA) Bakebera olubuto ng’omwana tannazaalibwa (Pre-natal DNA) Okuzuula ekikula n’obuzaale bw’ekisolo (Veterinary DNA) Bakebera ebinkumu, amagumba n’obulambe bw’omuntu okugeza mu kifo we batemulidde omuntu (Forensic DNA). Basobola okukebera ebintu ng’engoye okuzuula nnannyini nkwaso oba entuuyo (Infi delity DNA) Osobola n’okukkiriza ne bakuggyako ebikukwatako ku butonde ne bw’oba ofudde bwe baleeta omwana nga bageraageranya (DNA profi le).

EBIFO GYE BAKEBERERA DNA MU KAMPALA Health Vibers Diagnostic Center e Makerere, Lancert Labalotories ku Buganda Road, MBA Clinical Labalatories ku Nakasero Road, Government Analytical

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Muzaata ali mu ddwaaliro.

Mutabani wa Muzaata atabuki...

MUTABANI wa Sheikh Nuhu Muzaata Batte avuddeyo ku bulwadde obuluma kitaawe. Atabukidde abasaasaanya amawulire ag'obulimba...

Loodi Meeya Lukwago

Loodi Meeya yafunye 'alaje'...

Loodi Meeya yafunye ‘alaje' enkambwe. Okusinziira ku basawo ‘alaje' y'embeera y'omubiri okwecanga ssinga gussibwaamu...

Abapoliisi nga balawuna mu Kampala.

Okunoonyereza kulaze ebibul...

OKUYITA mu kunoonyereza kwa Vision Group etwala ne Bukedde, Bannayuganda balaze ebyokwerinda n’obutebenkevu bwe...

Nakibinge

Kasikonda amusse ayigga kalulu

KASIKONDA akutte eyeesimbyewo ng'anoonya akalulu n'aziyira. Amulumye okumala ennaku nnya ng'assiza ku byuma oluvannyuma...

Abasawo nga bassa omwana mu ‘incubator’

Bafunye ebyuma ebibikka abaana

OMUWENDO gw'abaana abafa nga tebannatuusa myezi 9 (kwe balina okuzaalibwa) mu disitulikiti y'e Kamuli, Buyende...