TOP

Bambega mu gwa Kaweesi babazizza ku bbali

Added 25th June 2018

BAMBEGA abanoonyereza ku kutemula Andrew Felix Kaweesi bazziddwa ku bbali.

 Johnson Dale Olaa abadde akulira okubuuliriza ku by’okufa kwa Kaweesi.

Johnson Dale Olaa abadde akulira okubuuliriza ku by’okufa kwa Kaweesi.

Balagiddwa okuwaayo fayiro zonna ku Kaweesi. Okubuuliriza ku Kaweesi kubadde kulirwa D/SSP Johnson Dale Olaa akulira bambega mu Kampala n’emiriraano.

Abalala ye Herbert Muhangi eyali akulira Flying Squad kyokka nga kati ali mu kkomera; D/SCP Joseph Obwona omumyuka w’akulira CID Grace Akullo, D/SSP Henry Mugumya eyasindikibwa e Bushenyi, D/SSP Felix Ebong, D/ASP Sophie Nabosi akulira bambega ku Kira Road.

Baalagiddwa fayiro bazikwase Grace Akullo. Kyokka ensonda zaategeezezza nti baabawadde obuvunaanyizibwa amaanyi bagasse ku by’okutemula Susan Magara.

Bino biddiridde okuzuula ng’abamu ku baakwatibwa mu by’okutta Kaweesi baabassaako obujulizi obupangirire.

Ekirala ababadde mu kubuuliriza ate nabo babuulirizibwako nga kigambibwa nti beenyigira mu lukwe lw’okutemula Kaweesi.

Okugeza Muhangi abadde mu kubuuliriza ate y’omu ku baakwatiddwa ku bigambibwa nti naye yabirimu.

Olukiiko olwetabiddwamu abakulira poliisi lwasembye balonde ttiimu empya kubanga abamu ku babadde babuuliriza basongeddwamu ennwe.

Era kijja kuba kizibu okuvaayo n’amazima ku bya Kaweesi. Kyokka ensonda endala zaategeezezza nti abaggyiddwa mu musango abamu be baasabye badde ebbali nga pulesa esusse.

Akullo agenda kulangirira ttiimu endala eneetwala fayiro mu maaso.

Ebitongole ebikessi okuli ISO ne CMI byeddiza okunoonyereza ku bya Kaweesi era bisobodde okukwata abantu okuli abaserikale ba poliisi abagambibwa nti baali mu lukwe lw’okumutemula.

Kaweesi yattibwa nga March 17, 2017 okumpi n’ewuwe e Kulambiro.

Yattibwa ne dereeva we Godfrey Wambewa n’omukuumi we Kenneth Erau. Era kigambibwa nti bambega baapapa okusemba okuvunaana mu kkooti abantu abaasooka okutwatibwa ku bya Kaweesi kubanga kyazuuse nga bangi baakwatibwa ku bujulizi bupange.

Kyategeezeddwa nti okupanga obujulizi naddala obussa Abasiraamu mu bya Kaweesi kwalimu n’omujaasi Lt. Kagina era yakwatibwa n’aggalirwa.

Kigambibwa nti amangu ddala nga Kaweesi attiddwa poliisi yakikola mu bugenderevu babeeko be bakwata naddala Abasiraamu abaali baludde nga bamulabula.

Baasalawo okuwaayiriza Abasiraamu kubanga Kaweesi yali yaakakulira okulumba Omuzigiti gwa Abatabuliki e Nakasero era ng’aliko n’ebikwekweto ebirala omwakwatirwa Abasiraamu.

Ekirala abayeekera ba ADF kumpi bonna abaali bakwatiddwa mu butemu baali Basiraamu. Nga kyali kijja kuba kyangu eggwanga okukkiriza nti bano be batta Kaweesi.

Kyokka era waliwo abatali Basiraamu abaayingizibwa mu kintu nga bano kuliko Maj. Galabuzi Musisi abazze bakwatibwa enfunda eziwera.

Olw’okuba Galabuzi muserikale baakiraba ng’ajja okukozesebwa oluvannyuma ayimbulwe.

Waliwo n’abazze bakwatibwa mu bubbi n’obutemu abassibwa ku lukalala lw’abalina okukwatibwa bassibwe mu kkomera kyokka eby’okutta Kaweesi bwe bikkakkana bayimbulwe.

Aba CMI ne ISO abazzeemu okunoonyereza ku nfa ya Kaweesi, baategeezezza nti abaserikale abaakola okunoonyereza baadibaga ebintu- fayiro baagikwata bubi, abasibe baakwata bakyamu, n’ebyandibadde biyamba okutuuka ku batemu abatuufu baabikwata bubi.

Kyokka ensonda zaategeezezza nti abaggyiddwa mu musango gwa Kaweesi tebaagobeddwa mu poliisi.

Baagobeddwa mu bya Kaweesi beemalire ku misango emirala. Kyokka omwogezi wa poliisi Emilian Kayima bwe yatuukiriddwa yagambye nti tebannaba kubeera beetegefu kwogera kintu kyonna we batuuse. Bajja kubuulira eggwanga we batuuse mu kiseera ekituufu.

Abamu ku baserikale abaakwatibwa nga kigambibwa nti baliko kye bamanyi ku bya Kaweesi kuliko Muhangi, Richard Ndabwoine, Col. Atwooki Ndahura, Abel Kitagenda, Moses Kasibante ne Martin Kimbowa.

Amagye gasooka kukwata Nixon Agasirwe eyali akulira ebikwekweto bya poliisi ebyenjawulo, Joel Aguma eyali akulira ekitongole kya poliisi ekikwasisa empisa, James Magada, Faisal Katende, Benon Atwebembeire n’abalala ku bigambibwa nti, baakwata bannansi ba Rwanda ne babakwasa Kagame era abamu ne battibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.

Minisita Anywar atya okutam...

AMAZZI g'ennyanja Nalubaale eyabooga ne gasalako oluguudo katono galemese Minisita okutuuka ku mwalo gw'e Kamuwunga...

Omusumba atonedde Poliisi e...

Ne yeeyama okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.