TOP

'Mukomye okwabizaawo ennyimbe '

Added 25th June 2018

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu okukomya omuze ogw’okwabizaawo ennyimbe nga baakava emagombe kubanga kino kikontana n’ebyobuwangwa by’Abaganda.

 Faaza Robert Ggaliwango ng'akwasa omusika Fred Kavuma (asooka ku kkono) omusaalaba.

Faaza Robert Ggaliwango ng'akwasa omusika Fred Kavuma (asooka ku kkono) omusaalaba.

Bya LAWRENCE KIZITO

Bino byabadde mu bubaka bwe obwamusomeddwa omumyuka wa Katikkiro asooka, Amb. Emmanuel Ssendawula ku mukolo ogw’okwabya olumbe lw’omugenzi Aloysius Darlington Lubowa eyaliko omulamuzi era Sipiika wa Buganda. Gwabadde Maya mu Busiro ku Lwomukaaga nga 23rd/06/2018.

“Ennaku zino abantu beegumbulidde omuze ogw’okwabya ennyimbe ng’okuziika kwakaggwa, ekireese enkaayana mu famire nnyingi okweyongera. Obudde buno obuleekebwawo wakati w’okuziika n’okwabya olumbe buwa omukisa aba Famire okugonjoola ensonga ezitali zimu eziyinza okuvaamu okwawukana mu b’oluganda.” Katikkiro bwe yagambye.

Yavumiridde n’enkola ey’okusikisa abaana abawala n’agaamba nti abakikola babeera bakotoggera kika kubanga abalenzi bebatambuza n’okwaza ekika.

Yabawadde amagezi waakiri abawala basikire eby’obugagga, naye abalenzi basigale nga basikira omusaayi.

Ye akulira ekika ky’Engo Muteesaasira Keeya Tendo Namuyimba yakubirizza ab’eddira Engo okwettanira eby’obufuzi n’abasaba beesimbewo ku bifo byobwa Sentebe b’ebyalo, abasuubirwa okulondebwa mu gw’omusanvu omwaka guno.

Ye Bwanamukulu wa Katende Parish Faaza Robert Ggaliwango nga yeyakulembeddemu ekitambiro kya Missa, yavumiridde eky’abantu abasudde ennyo eby’obuwangwa ensangi zino nga bagamba nti bya sitaani n’agamba nti bano obutamanya bwe bubatawanya.

Ye Kavuma Fred nga yeyasikidde A.D Lubowa yeeyamye okukuuma banne nga bali bumu n’okwongera mu maaso ebyo Kitaawe bye yaleka tamalirizza.

Omugenzi A.D Lubowa yafa mwaka guwedde mu Desemba.

Yaliko sipiika w’olukiiko lwa Buganda, munnamawulire ate nga y’omu ku baalwanirira obwetwaze bwa Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...