TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Yaaya abbye omwana wa mukamaawe poliisi emukutte

Yaaya abbye omwana wa mukamaawe poliisi emukutte

Added 25th June 2018

Yaaya abbye omwana wa mukamaawe poliisi emukutte

 Olivia Nandoyi akwatiddwa Poliisi

Olivia Nandoyi akwatiddwa Poliisi

POLIISI e Mukono ekutte era n’eggalira yaaya ategeerekese nga Olivia Nandoyi,19,agambibwa okuba nga abadde yabba  omwana wa mukamawe  ow’emyezi kkumi gyokka!

Nandoyi yakwatiddwa ku kyalo Rwakaka, okuliraana ensalo ya Uganda ne Kenya.

Maama w’omwana ategeerekese nga Olivia Nakabuye, omutuuze womu Kikooza mu Municipaali y’e Mukono, agamba nti yanoonya  omwana ng’ayagala okumuyonsa naye nga tamulabako era agenda okukebera nga  ne yaaya kennyini yali abuzeewo!

“Amangu ago nategeezezza ku balirwana ne Poliisi y’e Mukono ne banyambako okunoonya omwana wange  wamu ne yaaya kyokka  Katonda annyambye n’embazuula nga wayise wiiki nnamba,” Bw’atyo Nakabuye bwe yategeezezza Bukedde.

Nakabuye ayongerako nti, yewuunyizza yaaya abadde yakamala ennaku essatu zokka ku mulimu ate okusitukira mu mwana we n’amubba.

Poliisi yagguddewo fayiro namba CRB 814/2018, era ng’omukwate arindiridde kutwalibwa mu kkooti amangu ddala ng’okunoonyereza kuwedde.

Ono mwana wa kubiri ng’abbibwa omukozi w’awaka mu bitundu by’e Mukono mu bbanga lya myezi esatu gyokka. Eyasooka yabbibwa  Babirye Nakilya nga April 4, 2018, ekirungi yamala n’alabika era n’addizibwa bazadde be.

Ebyo nga bukyali awo, waliwo n’omukozi omulala ayitibwa Sanyu Apio, eyabadde abbye omwana wa mukamawe mu bitundu by’e Bunamwaya, mu Wakiso, kyokka oluvannyuma n’akwatibwa era omwana (Bayani) n’addizibwa bazadde be nga mulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...