TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni ne Bashir batabaganyizza Machar ne Kiir

Pulezidenti Museveni ne Bashir batabaganyizza Machar ne Kiir

Added 27th June 2018

PULEZIDENTI Museveni ne Omar al-Bashir owa Sudan batabaganyizza Pulezidenti wa South Sudan, Salva Kiir ne Dr. Riek Machar bwe baludde nga tebalima kambugu.

 Machar, Museveni, Bashir ne Kiir nga bawanise emikono okulaga obumu.

Machar, Museveni, Bashir ne Kiir nga bawanise emikono okulaga obumu.

Ensinkankano yabadde mu kibuga Khartoum ekya Sudan ku Mmande nga kyaddiridde eyasooka eyali mu kibuga Addis Ababa ekya Ethiopia okugwa obutaka wiiki ewedde.

Museveni yasabye bannabyabufuzi abanenehhana okukulembeza obulungi bw’eggwanga, emirembe n’obumu bw’abantu bonna aba South Sudan.

Ensisinkano yagendereddwaamu okutema empenda ezinaakomyawo emirembe mu South Sudan egimaze ekiseera nga gibeesambye.

Olukiiko bwe lwabadde lutandika Marchar ne Kiira nga beegattiddwaako Museveni ne Bashir beekutte mu mikono ne bagiwanika mu bbanga ng’akabonero k’emirembe n’obumu.

Abayeekera ba SPLM-10 abakulirwa Machar baasooka kukola ndagaano ey’okukomyawo emirembe mu 2015, kyokka ne baddamu okutabuka mu July 2016 ekyawaliriza Machar okudduka mu ggwanga.

Mu May 2018 ekibiina ky’amawanga amagatte kyalabula enjuyi zombi nga bwe zaali zoolekedde okubonerezebwa singa tebayimiriza kulwana n’okutta abantu abatalina musango.

South Sudan yafuna obwetwaze okuva ku Sudan mu July wa 2011 oluvannyuma lw’olutalo olwali

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasuie ng’assa omukono ku ndagaano.

Musaayimuto wa SLAU yeesung...

KAPITEENI wa St. Lawrence University (SLAU) mu Pepsi University League, Ibrahim Kasule amanyiddwa nga ‘Owen Baba...

Kyambadde ng’asiba omupiira. Ku ddyo bw’afaanana kati.

Eyali ssita wa KCC ne Crane...

BULI lw’okoona ku linnya lya Ibrahim Sekaggya, Abubaker Tabula, Wilber Musika n’abalala, Willy Kyambadde ayunguka...

Ssenninde

Ssita wa Crested Cranes yee...

OMUZIBIZI wa ‘Crested Crane’ ttiimu y’eggwanga ey’omupiira mu bakazi Jean Namayega Sseninde ayabulidde Queens Park...

Omugenzi Waiswa. Ku ddyo ye Nnaalongo

Poliisi eggalidde Nnaalongo...

SSAALONGO ow’abakyala omunaana, puleesa zimukubye n’afiirawo nga poliisi eggalidde omu ku bakyala be mu kaduukulu....

Abamu ku ba saluuni abaakwatiddwa nga batuusibwa ku poliisi ya CPS.

Poliisi yeezoobye n'abaggud...

POLIISI ekoze ekikwekweto n’ekwata abakazi ababadde basiba n’okukola enviiri, ku kizimbe kya Gazaland ne Equatorial...