TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni kyaddaaki ayogedde ku nsonga ya Kayihura

Museveni kyaddaaki ayogedde ku nsonga ya Kayihura

Added 28th June 2018

Museveni kyaddaaki ayogedde ku nsonga ya Kayihura

 Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Museveni

PULEZIDENTI Museveni ayogedde ku by’okukwata Gen. Kale Kayihura n’ategeeza nti yali ayitirizza okubeera n’abantu baabulijjo ekyamutuusa n’okwerabira omulimu gwe.

Yasinzidde mu nsisinkano gye yabaddemu n’ababaka ba Palamenti ku ofiisi ya Katikkiro wa Uganda eggulo n’ategeeza nti; “Kayihura yayagala okubeera n’abantu baabulijjo ne yeerabira omulimu gwe”. Kyokka teyalambuludde ku ngeri Kayihura gye yeerabira omulimu gwe n’engeri gye yali ayitirizza okubeera n’abantu baabulijjo. Guno gwe mulundi ogusoose Pulezidenti okwogera ku Kayihura bukya akwatibwa wiiki bbiri emabega nga June 13, 2018.

Baamuggya ku faamu ye esangibwa e Kasagama mu disitulikiti ye Lyantonde ng’okuva olwo akuumirwa mu nkambi y’amagye e Makindye. Ensisinkano eno ababaka abamu abooludda oluvuganya tebaagyetabyemu era Robert Kyagulanyi Sentamu (Kyaddondo East) yagambye nti yabadde tayinza kubeera mu lukiiko olugaaniddwaamu bannamawulire ng’ensonga ze boogerako si za nkiso.

Abamu ku babaka abaabadde mu lukiiko baatutegeezezza ebyalubaddemu. Muhammad Nsereko (Kampala Central) yabuuzizza Pulezidenti ky’ayogera ku ddembe lya mubaka munnaabwe Betty Nambooze (Mukono Munisipaali) ali mu ddwaaliro e Kiruddu nga mulwadde, kyokka nga yagaaniddwa okugenda ebweru okufuna obujjanjabi.

Pulezidenti mu kwanukula yagambye nti Nambooze wa mpisa mbi okusinziira ku bigambo bye yayogera. Yalaze nti yabadde akitegeddeko nga bw’agenda okutwalibwa e Buyindi okwongera okujjanjabwa ekintu ky’atalinaako buzibu.

Kyokka olunaakomawo ng’awerennemba n’emisango gye yazza. “Ssebo Pulezidenti emyaka giweze kumpi musanvu nga buli muntu attibwa abakwatibwa babeera Basiraamu.

Bangi balangibwa bwemage ne batulugunyizibwa. Lwaki buli musango oguzzibwa bakwata Basiraamu?” Bwatyo Latif Sebaggala (Kawempe North) era Imaam wa Palamenti bwe yabuuzizza. Mu kwanukula Pulezidenti yawakanyizza ekya Gavumenti okuyigganya Abasiraamu n’agamba nti Abasiraamu baakola kinene okuleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza.

Yagambye nti bwe baba bakwata abazza emisango tebasooka kubuuza nti “osoma ddiini ki”, wabula bakwata yeenyigidde mu bikolwa ebimenya amateeka. Ababaka baasabye Pulezidenti okuwaliriza bannannyini bizimbe mu bibuga ebinene okugula kkamera baziteeke ku bizimbe waggulu.

Kyokka kkamera zino zirina okuba nga ziyungiddwa ku kifo kimu ekya Gavumenti nga basobola okulaba buli ekigenda mu maaso. Ababaka abamu ekya kkamera baagambye nti kiyinza obutayamba kuba tezikola mu nzikiza ate ng’ettemu liri buli wantu. Ababaka baasabye Pulezidenti waakiri basisinkanenga emirundi ebiri mu mwaka bongere okubeerako ensonga ze boogera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...