TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa Poliisi akwatiddwa n'essimu ya Felix Kaweesi

Owa Poliisi akwatiddwa n'essimu ya Felix Kaweesi

Added 28th June 2018

Owa Poliisi akwatiddwa n'essimu ya Felix Kaweesi

ABA ISO ne CMI ababuuliriza ku kutemula Andrew Felix Kaweesi bongedde okuzuula obujulizi obulaga nti olukwe lwalimu abaserikale ba poliisi. Bwe baamala okutemula Kaweesi badduka n’essimu ye ne batambula nayo okuva e Kulambiro we baamuttira ne bayita e Kisaasi ne beeyongerayo e Kyanja okutuuka e Kitetikka ku lw’e Gayaaza we bookera embuzi.

Bwe baatuuka ku lw’e Gayaaza ne bavuga nga boolekedde Kampala okutuuka e Kanyanya ne bakwata ekkubo erigenda ku Bahai e Kikaaya okutuuka ku nkulungo ya Kisaasi - Bukoto. Wano we baava ne bakkirira e Kisaasi ne beeyongerayo e Kulambiro we battira omugenzi ne bazzaawo essimu ye.

Kirowoozebwa nti kino baakikola okubuzaabuza enfa ya Kaweesi kyokka beerabira okuggyako essimu n’esigala ng’ekwatibwa emirongooti yonna gye baayita. Aba ISO bagamba nti kino kyongera okulaga ng’abaserikale baali mu butemu kubanga baatwala essimu y’omugenzi kyokka ne bakomawo nayo we baamuttira nga tebalina kye batidde. Kaweesi yatemulwa March 17, 2017 e Kulambiro.

Yattibwa ne ddereeva we Godrey Mambewa n’omukuumi Kenneth Erau. Bambega baazudde ng’abatemu okuva we battira Kaweesi baatambulira ku pikipiki okutuuka e Kisaasi awaali wasimbye loole enzigule emabega (box body) mwe baayingiza pikipiki olwo loole n’egenda ng’erimu abatemu ne pikipiki n’emmundu ssatu ezaali ez’abagenzi.

Kyokka emmotoka bwe yatuuka mu kkubo, abamu ku batemu ne bavaamu ne balinnya akamotoka ka poliisi ennawunyi ne bavuga okuddayo we battidde Kaweesi ng’olwo bali mu kiti kyabwe eky’abaserikale nga bali mu mmotoka za poliisi entongole.

Essimu ya Kaweesi oluvannyuma yasangibwa n’omu ku boofi isa ba poliisi mu kiseera kino abuulirizibwako ku bigambibwa nti yali mu lukwe lw’okutemula Kaweesi. Kyokka lipoota eyasooka okufuluma yalaga ng’abatemu essimu baali tebagitutte. Wabula oluvannyuma lw’essimu okussibwa mu kyuma ekisoma emirongooti gy’amasimu eraga ng’essimu yali Kulambiro ku ssaawa 3:00 ez’enkya Kaweesi kwe yattirwa.

Emirongooti giraga obudde obwenjawulo okuva ku ssaawa ezo n’ebifo essimu eyo mwe yayita kyokka zaagenda okuwera essaawa nga 4:00 ez’enkya ng’ezzeeyo mu kifo kyennyini awattirwa Kaweesi. Bambega balowooza nti abatemu kino baakikola kubuzaabuza oba ng’essimu baali basazeewo okugibuza kyokka ne bakizuula ng’eyinza okubaleetera ebizibu ssinga wabaawo abakubira omugenzi oba ssinga wabaawo abagirondoola.

Kye baava bagizza we baamuttira ereme okukozesebwa ng’obujulizi. Bambega okutuuka ku bino baasooka kukwata muserikale Abel Kitagenda agambibwa nti yeenyigira butereevu mu butemu. Ekyaddirira kukwata baserikale abalala okuli, Martin Kimbowa, Moses Kasibante, Herbert Muhangi eyali akulira Flying Squad, Col. Ndahura Atwoki eyali akulira ekitongole kya poliisi ekikessi. Okuva Kaweesi bwe yattibwa poliisi n’ebitongole byatandika omulimu gw’okunoonyereza ku ttemu lino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...