TOP
  • Home
  • Agawano
  • Poliisi ekutte abalala ku by'okutta Maama wa ddiifiri

Poliisi ekutte abalala ku by'okutta Maama wa ddiifiri

Added 30th June 2018

POLIISI eyongedde okukwata abagambibwa okwenyigira mu kutemula nnyina wa ddiifiri wa FUFA, Denis Batte n’ezuula ebizibiti omuli engoye, omufaliso, akabookisi mweyali atereka ssente ke baamubbako n’ebintu ebirala.

 Okuva ku kkono, Tino, Nsubuga, Lubulwa ne Mayanja ku poliisi e Kyengera.

Okuva ku kkono, Tino, Nsubuga, Lubulwa ne Mayanja ku poliisi e Kyengera.

Poliisi yasooka kukwata Dina Tino eyali abeera n’omugenzi Tereeza Ziribaggwa e Kyengera n’omutemi w’embizzi Ssaalongo Denis Lubulwa bombi ne bakkiriza okwenyigira mu butemu nti kyokka tebaali bokka.

Omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano Lucas Owoyesigyire yagambye nti, Tino yakkiriza okwenyigira mu butemu n’abawa n’amannya g’abantu abatta Ziribaggwa nebasooka bakwata Lubulwa.

Yagasseeko nti, olugoye lwa Tino n’essaati ya Lubulwa baazisangako omusaayi, baazitutte ew’omukugu wa Gavumenti mu kukebera endaga butonde ku Government Analytical Laboratories e Wandegeya okwekebejja oba ddala gwe musaayi gwa Ziribaggwa.

Ku Lwokuna, poliisi yakutte abasajja abalala babiri okuli Charles Nsubuga 47 omutuuze w’e Mugongo A ono kigambibwa nti, yalina enkolagana ey’enjawulo ne Ziribaggwa.

Omulala eyakwatiddwa ye Paul Mayanja 35 omutuuze w’e Mugongo B.

Tino ne Lubulwa, buli omu yalumiriza munne mu maaso ga poliisi nga Tino agamba nti, yali mu nnyumba ewa Ziribaggwa gye yali yanobera abasajja okwali ne Lubulwa ne bakonkona bwe yabaggulira baamukwata ne bamusiba akandooya olwo ne basooka basobya ku mukadde n’oluvannyuma ne bamutta ye ne bamuwa ssente ne bamulagira ave ku kyalo.

Owoyesigyire yagambye nti we batuuse, fayiro enaatera okuggwa era essaawa yonna bagenda kubatwala mu kkooti bawerennembe n’ogwobutemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

HAJJ SABIITI MUYIMBWA W’E KAYUNGA: Puleesa yanziba amaaso Kati emyaka 15 siraba.

Engeri okulonda ne Covid - ...

ABAAWANGUDDE n’abaagudde mu kalulu akaakaggwa bangi baakavuddemu balwadde entunnunsi. Ku bano bw’ogattako abo okweraliikirira...

Omukyala ng’akuuta bbebi ebinnyo.

Kozesa kigerekyampisi okuvu...

EBINNYO bwe bulwadde obukwata abaana abali wakati wa wiiki emu n’emyezi esatu. Omwana alwadde ebinnyo ebibuno biba...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera eri bakkansala mu lukiiko lwa kkanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ne Town Clerk, Denis Omodi.

Balaajanye ku ky'okwerula e...

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y’e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za Munisipaali y’e Nakawa mu...

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

Ez'emyoga zitabudde aba sal...

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association...

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...