TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eby'okutta Kaweesi biranze; Waliwo bofiisa abasongeddwaako

Eby'okutta Kaweesi biranze; Waliwo bofiisa abasongeddwaako

Added 2nd July 2018

Eby'okutta Kaweesi biranze; Waliwo bofiisa abasongeddwaako

ABAJULIZI mu musango gw’okutta Andrew Felix Kaweesi babatutte ne babalaga abaserikale abaakwatibwa okukakasa nga beebo abatuufu be balumiriza okwenyigira mu kutemula Kaweesi.

Ensonda zaategeezezza nti omu ku bajulizi yasonze ku baserikale basatu b’agamba nti beetaba mu lukiiko olwakuba pulaani y’okutemula Kaweesi. Omujulizi naye mu lukiiko olwo yalimu.

Omujulizi omulala yasonze ku baserikale babiri b’alumiriza nti yabalaba nga bakedde mu kifo oluvannyuma we battira Kaweesi e Kulambiro. Kaweesi yattibwa nga March 17, 2017 nga yaakasimbula mu maka ge e Kulambiro. Yattibwa ne dereeva we Godfrey Mambewa n’omukuumi we Kenneth Erau. Kigambibwa nti ku lunaku Kaweesi lwe yattibwa, waliwo omuserikale ali mu kibinja kya Flying Squad eyakeera ewa Kaweesi ku geeti ng’avuga pikpiki n’ayogera n’abakuumi ba Kaweesi.

Oluvannyuma yagivuga n’agisimba mu kifo awattirwa Kaweesi era yamalawo akaseera ng’aliko gw’anyumya naye (ono yategeerekese nga yali muserikale). Kigambibwa nti emmotoka ya Kaweesi bwe yatuuka abantu bano we baali omu ku baserikale n’agiyimiriza kubanga baali bamanyiganye ne Kaweesi, olwo ne balyoka bamutemula.

Ekitongole kya ISO n’ekya CMI baakwata abaserikale okuli Herbert Muhangi eyali aduumira Flying Squad, Moses Kasibante olumu eyeeyita Kasiba, Martin Kimbowa ne Abel Kitagenda.

Kyokka tekyategeerekese baani ku bofiisa abajulizi be baasonzeeko. Wabula Kitagenda bwe yakwatibwa gye buvuddeko kyategeezebwa nti ye yakeera ewa Kaweesi ate munne Kimbowa ne kitegeezebwa nti waliwo obujulizi obulaga nti yavuga emu ku pikipiki ezaakozesebwa abatemu.

Kigambibwa nti waliwo omujulizi agamba nti yalaba Kitagenda mu mu kifo we battira Kaweesi. Kigambibwa nti waliwo enkiiko ezenjawulo ezaateesa ku kutta Kaweesi nga zituula ku woteeri e Lugogo.

Olukiiko olwasembayo lwatuula ku Lwokuna nga March 16, olwo Kaweesi n’atemulwa enkeera. Kigambibwa nti muninkini wa Kaweesi, Christine Mbabazi Muhoza yali mu nkiiko zino era agenda kuba omu ku bajulizi mu musango guno. Mu kiseera kino akuumibwa magye mu maka ge e Lungujja. Mbabazi yasooka kwegaana bw’atalina ky’amanyi ku bya kutta Kaweesi.

Kyokka ensonda mu ISO zaategeezezza nti bwe yalabye nga banne bwe baali babakutte n’akkiriza okuba omujulizi mu musango guno abalumirize. Okutwala abajulizi okubalaga abagambibwa okwenyigira mu kutta Kaweesi gwe gumu ku mitendera emikulu mu musango guno era guyitibwa “Identification Parade”. Omutendera omulala gwabaddewo wiiki ewedde, aba ISO bwe baatutte abajulizi e Kulambiro we battira Kaweesi okulaba ng’obujulizi bwabwe bukwatagana ne bye baalaba (Scene reconstruction).

BABATWALA DDI MU KKOOTI? Aba ISO baategeezezza nti ssinga gubadde musango mulala, fayiro zandibadde zikwasibwa poliisi ne zongerwayo eri omuwaabi wa Gavumenti ne bavunaanibwa.

Kyokka omusango guno muzibu kubanga gulimu abanene mu poliisi. Kyetaagisa okuddamu okwekenneenya obujulizi bwonna obutalekaawo muwaatwa. Kino kiri bwe kityo kubanga Kaweesi yagenda okuttibwa nga waliwo abantu bangi abatutumufu abatemuddwa okuli Maj. Mohammed Kiggundu, Joan Kagezi ne Bamaseeka.

Ensonda zaagambye nti ssinga kikakasibwa ng’abaserikale be batta Kaweesi, kijja kuggulawo okubuuliriza okupya mu misango gy’okutemula abantu abaasooka okuttibwa okuli ne Bamaseeka okukakasa ng’abaserikale ba poliisi tebalina kakwate mu butemu obwasooka.

MUNINKINI WA KAWEESI Kigambibwa nti Mbabazi okukkiriza okuba omujulizi mu musango guno yamaze kukakasa nti oluvannyuma lw’okutta Kaweesi, waaliwo pulaani naye okumutemula kubanga y’omu ku abo abatemu be beekengera okubalonkoma. Nti ono baalina kumutemulira Rwanda wabula ISO bwe yamanya n’eyingirawo n’emukuumira mu nnyumba okumulemesa okugenda e Rwanda ku lugendo lwe yali ategese.

Okutya kwa ISO kwava ku kukizuula ng’omuvubuka makanika eyalaba ebyaliwo nga Kaweesi atemulwa yeetwala ku poliisi okuwa amawulire agayinza okugiyamba okukwata abatemu, kyokka yatuukira mu mikono gya boofiisa abagambibwa okwenyigira mu butemu era ne bamwekyusiza n’akwatibwa.

Oluvannyuma omuvubuka ono Mukwasi baamusalako omutwe, omulambo ne gusuulibwa e Masaka.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda mu October wa 2017 yategeeza nti yali akizudde nti, waaliwo olukwe lw’okutta Muhoza kubanga yalina obujulizi obwamaanyi ku batta Kaweesi. Ensonda zaategeezezza nti Muhoza yakoze sitatimenti mwe yategeerezza nti, eggulo limu, yali ne Kaweesi ne bagenda ku lusozi e Sseguku mu kusaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...