TOP

Amagye gatuuzizza olukiiko ku bya Kayihura

Added 3rd July 2018

Amagye gatuuzizza olukiiko ku bya Kayihura

 Kayihura

Kayihura

AMAGYE gatuuzizza olukiiko okusalawo ku bya Gen. Kale Kayihura omuli emisango egigenda okumuvunaanibwa n’olunaku lw’agenda okutwalibwa mu kkooti. Ensonda mu beebyokwerinda zaategeezezza nti olukiiko lwatudde ggulo nga lukubirizibwa minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine.

Lwabaddemu abakungu b’ebitongole ebiri mu kunoonyereza ku Gen. Kayihura ne boofi isa ba poliisi abaakwatibwa n’abagambibwa nti beenyigira mu kutemula Andrew Felix Kaweesi eyali omwogezi wa poliisi.

Okusinziira ku nsonda e Mbuya ku kitebe ky’amagye, olukiiko gye lwatudde, poliisi yakulembeddwaamu dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango Grace Akullo ne dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekirwanyisa obutujju Abbas Byakagaba.

Abalala kwabaddeko akulira Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) Brig. Abel Kandiho, dayirekita wa ISO Frank Kaka Bagyenda, dayirekita wa External Security Organisation (ESO) Joseph Ocwet ne boofi isa b’amagye abalala era lwakulunguludde essaawa eziwera.

Ebimu ku byayogeddwaako mwabaddemu okunoonyereza we kutuuse ku Gen. Kayihura eyakwatibwa nga June 13, 2018 okuva ku ffaamu ye ku kyalo Katebe mu ggombolola y’e Kasagama e Lyantonde na ddi lwe basuubira okumutwala mu kkooti. Okusinziira ku nsonda, kyasaliddwaawo Kayihura asooke awozesebwe mu kkooti y’amagye esookerwako emanyiddwa nga Unit Disciplinary Committee (UDC) ekulirwa Col. Tom Kabuye.

Kyokka engeri Kayihura gy’asinza Kabuye amadaala asatu, baasazeewo bafune Genero anaakubiriza kkooti eno nga Kayihura atwaliddwaayo. Waabaddewo okukubagana empawa ng’abamu bagamba nti kkooti eyo ya wansi okuwozesa Genero wabula abalala nga bagamba nti etteeka ly’amagye teribakugira kumutwalayo n’asomerwa emisango oluvannyuma ne balyoka bamutwala mu General Court Martial e Makindye ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Guti. Lt. Gen. Gutti ne banne abaalondebwa mu kisanja ekipya n’okutuusa eggulo baabadde tebannalayizibwa kutandika mirimu mu butongole.

Kigambibwa nti amagye gasanze okusoomoozebwa okuva mu balooya n’ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu n’ababaka b’amawanga naddala aga Bulaaya agabataddeko akazito okutwala Kayihura mu kkooti avunaanibwe.

Angela Kayihura, mukazi wa Gen. Kayihura naye tatudde ayagala bba bw’aba alina omusango, bamutwale mu kkooti okusinga okumukuumira mu nkambi y’amagye gy’awezezza ennaku 21. Kayihura bakkiriza abantu batono okumukyalira mu nkambi y’amagye gye bamukuumira e Makindye.

Abamulaba kuliko aba famire ye (omukazi n’abaana), omusawo we ne bannamateeka be aba Kampala Associated Advocates. Bannamagye abamu nabo baagala Kayihura atwalibwe mu kkooti okuggyawo embeera abantu be gye bataddewo ey’okugezaako okuperereza abanene mu Gavumenti boogere ne Pulezidenti Museveni amusonyiwe.

Kigambibwa nti Kayihura yagaana aba famire okutwala ekiwandiiko kyonna mu kkooti okuwaliriza amagye okumutwala awozesebwe, ng’ayagala kiwe abantu be obudde okwegayirira Pulezidenti amuddiremu nga beesigama ku mirimu gy’akoledde NRM naddala okunafuya ab’oludda oluvuganya ng’afufuggaza okwekalakaasa kwabwe. Okusinziira ku nsonda, kino kye kyawalirizza abanoonyereza n’abakwatibwako ensonga ya Kayihura okutuula bukubirire baselawoekiddako.

Wabula bye baasazeewo byabadde birina okutwalibwa mu kakiiko k’amagye ak’oku ntikko okubikakasa era bwe wanaabaawo bye kakyusizza bajja kugenda n’ebyo akakiiko ako bye kanaaba kasazeewo olw’enkizo gye kalina. Kyokka omwogezi w’amagye Brig.

Richard Karemire bwe yatuukiriddwa ku ssimu okubaako kyannyonnyola ku lukiiko olwatudde, yagambye nti talina ky’amanyi ku lukiiko olwo, wabula ate amangu ago n’agattako nti, “Abantu bwe balaba ng’abaserikale bakuηηaanye, tekitegeeza nti baba bazze mu lukiiko.” N’agamba nti, amagye ensonga ya Kayihura gagikutte bulungi era bwe ganaaba gamalirizza bajja kutegeeza eggwanga ekiddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...