TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakozesa 'Social Media' balabuddwa ku kwepena omusolo ogwa 200/-

Abakozesa 'Social Media' balabuddwa ku kwepena omusolo ogwa 200/-

Added 3rd July 2018

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kuluhhamya eby’empuliziganya mu ggwanga (UCC) kiragidde kkampuni z’amasimu eziguza abantu yintanenti zigule tekinologiya alondoola n’okukugira abeewala okusasula omusolo ogwa 200/-.

Gavumenti olwaleese omusolo gwa OTT tax gw’osasula okufuna emikutu gya ‘social media’, n’abantu ne basala amagezi okukozesa emikutu nga VPN (Virtual Private Network) n’emirala okwewala okugusasula.

Wano UCC w’esinzidde okulagira ab’amasimu ku beepena omusolo. Bino byavudde mu nsisinkano gye baatuddemu eggulo, omwabadde Ying. Godfrey Mutabaazi akulira UCC, ekitongole ekiwooza emisolo URA, kkampuni z’amasimu n’ebitongole bya gavumenti ebirala.

Avunaanyizibwa ku nsonga z’abantu abakozesa emikutu gy’empuliziganya mu UCC, Ibrahim Bbosa yategeezezza Bukedde nti mu nsisinkano bakkaanyizza nti kkampuni z’amasimu zirina okugula tekinologiya ono n’okusomesa abantu ebirungi ebiri mu kuwa omusolo gwa OTT(Over The Top) ogwatandise ku Ssande.

Minisita w’Ebyensimbi Matia Kasaija omusolo guno yagwanjudde nga June 14, 2018 ng’asoma bajeti. UCC n’ebitongole ebirala baasazeewo okuddamu okusisinkana nga wayiseewo wiiki bbiri bongere okwetegereza ebyasaliddwaawo we bituuse.

BAWAWAABIDDE GAVUMENTI

N’abakozesa amasimu tebatudde. Eggulo baatutte omusango mu kkooti etaputa Ssemateeka nga bawawaabira gavumenti ne UCC olw’omusolo gwa 200/- omuntu gw’alina okusasula buli lunaku okusobola okufuna empeereza ku WhatsApp, Facebook, twitter n’emirala.

Abaddukidde mu kkooti kuliko: Daniel Opio, Moses Baguma, Emmauel Okiror, Silver Kayondo ne Raymond Mujuni nga bali wamu ne kkampuni ya Cyber law Initiative Uganda Ltd.

Bagamba nti omusolo guno gwayisibwa lwa nsonga za byabufuzi si lwa bulungi bwa bantu era gumalako abantu eddembe lyabwe.

Baawadde ensonga nti gugenda kuyingirira nnyo ebyenfuna by’abantu n’okuyingirira emikutu gy’amawulire egikozesa yintaneti okuguza abantu amawulire ne bagasomera ku ‘website’.

Bagamba nti gugenda kulemesa abantu okutandikawo emirimu so nga gavumenti ebakubiriza okubeera abayiiya.

UCC bagivunaana okukkiriza URA okuggya ku bantu omusolo guno era baagala ennyonnyole lwaki gavumenti tewa bantu yintaneti ya bwereere ng’amawanga amalala bwe gakola.

Omusolo tegwakomye ku bakozesa WhatApp, wabula n’abakozesa Mobile Money okusindika ssente bakaaba kubanga ssente ezisalibwako ng’oteeka ssente ku ssimu n’okuggyayo zeeyongedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...