TOP

Ebya Betty Nambooze biteredde

Added 4th July 2018

Ebya Betty Nambooze biteredde

 Nambooze

Nambooze

OMUBAKA Betty Nambooze Bakireke (Mukono munisipaali), asuubirwa okusitula leero okugenda e Buyindi okuddamu okumulongoosa omugongo abasawo gwe baakebedde ne bakizuula nti gwetaaga obujjanjabi obw’amangu. Bba Henry Bakireke yategeezezza nti agenda kulinnya ennyonyi ku ssaawa 5:00 ez’oku makya.

Yagambye nti ebbaluwa etambuza omulwadde ku nnyonyi ebadde emusibye yakoleddwaako n’enteekateeka y’abasawo e Buyindi nayo yamaliriziddwa. “Okumulongoosa kugenda kusalibwawo dokita. Naye okusinziira ku mbeera y’omulwadde nsuubira bwe banaddamu okumukebera bagenda kumulongoosa kubanga abadde talina bujanjabi bwe bamuwa okuggyako amakerenda agakendeeza obulumi”, Bakireke bwe yategeezezza.

Nambooze yakkirizibwa poliisi okugenda e Buyindi ku kakalu kaayo kyokka n’emuwa okutuuka nga July 29 omwaka guno okuddayo yeeyanjule. Nambooze yagambye nti wadde yali ateekwa okuddayo mu ddwaaliro okukeberebwa naye obulwadde bwasajjulwa abaserikale abaamukwata.

“Bankuba n’okuntulugunya omugongo ne guttuka. Baasajjula obulwadde abaserikale abaali bamperekera mu kabangali ya poliisi bwe yatomera mmotoka yaffe etambuza abalwadde ne nva ku katanda ne ngwa wansi mu mmotoka ebyuma mu mugongo ne biseeseetuka,” Nambooze bwe yagambye.

Abasawo baali bamugaanyi okuddayo nga bagamba nti basobola okumujjanjaba kyokka embeera bwe yayongera okwonooneka ne bamukkiriza atwalibwe. Palamenti ya Uganda mu nkola yaayo eya yinsuwa yamuwadde obukadde 100 atwalibwe e Buyindi. Kyokka poliisi yategeezezza nti basigadde banoonya bujulizi ku musango gwavunaanibwa okuwandiika ebigambo ebyobulabe n’okusasamaza ku mukutu gwa komputa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?