TOP
  • Home
  • Agookya
  • Bakutte omujaasi abadde akyusa obujulizi ku bya Kaweesi

Bakutte omujaasi abadde akyusa obujulizi ku bya Kaweesi

Added 5th July 2018

OMUJAASI wa CMI abadde agezaako okugulirira abajulizi mu musango gwa Kaweesi bakyuse sitatimenti ze baasooka okukola akwatiddwa.

 Abakugu ba poliisi nga beekenneenya ekifo Kaweesi we yattirwa e Kkulambiro.

Abakugu ba poliisi nga beekenneenya ekifo Kaweesi we yattirwa e Kkulambiro.

Omujaasi ono abadde omu ku bali mu mitambo gy’okunoonyereza okupya ng’ali ku kakiiko akaateekebwawo omuduumizi wa UPDF Gen. David Mohoozi okuddamu okunoonyereza, okwekenneenya obujulizi n’okuteekateeka fayiro empya egenda mu kkooti.

Ku kakiiko kano kutuulako bamayinja b’ebitongole b’ebyokwerinda byonna okuli CK.

Asiimwe owa Joint Anti-Terrorism Task Force (JATT), Abel Kandiho owa Chieftaincy of Military Intelligence (CMI), Don Nabasa ow’eggye erikuuma pulezidenti (SFC), Grace Akullo dayirekita w’ekitongole ekinoonyereza ku misango mu poliisi (CID), Abbas Byakagaba dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekirwanyisa obutujju, Col. Frank Kaka Bagyenda dayirekita wa ISO n’abalala.

Okusinziira ku nsonda mu bimu ku bitongole by’ebyokwerinda, akakiiko kakulirwa minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine.

Katuula buli luvannyuma lwa kiseera okuyisa mu bye baba bakuηηaanyizza n’okulaba engeri gye bagenda okutwala abasibe mu kkooti n’okukubaganya ebirowoozo ku kkooti gye bagenda okubatwalamu.

Omujaasi ebintu byamwonoonekedde mu lumu ku nsinsikano z’akakiiko ezaabaddewo wiiki ewedde omu ku bajulizi bwe yasabye nti alina by’ayagala okugamba abanoonyereza n’asaba atwalibweyo nga batudde.

Omujulizi ono, ye musajja alina ebiviiri by’abalaasi eyategeerekese nga Rasta agambibwa nti ye yavuga emu ku pikipiki ezaatambuza abatemu abatta Kaweesi nga March 17, 2017 e Kkulambiro.

Bakutte omujaasi abadde akyusa obujulizi ku bya Kaweesi Kigambibwa nti, bwe yatuusiddwa mu maaso g’akakiiko yatandikidde mu kuyomba n’agamba nti, “Nze nneewaayo okukolagana nammwe mu bulungi kubanga nali mpulira nga kye nnakola kinnumiriza ku mutima naye ate bye mutandise okunsaba nkole sijja kubikkiriza sisobola kukyusa kye nnasalawo.”

Okusinziira ku nsonda ezaabadde mu lukiiko, Rasta yasonze ku mujaasi wa CMI eyabadde atudde mu ntebe n’abagamba nti, ‘Munnammwe oyo yantuukiridde n’ambuuza ssente ze njagala nkyuse sitatimenti nve mu musango ne ηηaana.’

Abakulu olwawulidde bino ne balagira omujaasi akwatibwe anoonyerezebweko ku bigambibwa nti yabadde ayagala okugula omujulizi ave mu musango.

Ensonda zaategeezezza nti, abantu bangi abaagala omusango guno okufa era gye buvuddeko, amagye gaakwata Lt. Kagina eyali omujaasi wa CMI agambibwa nti yapanga obujulizi ku basibe abaatwalibwa mu kkooti.

Kagina kigambibwa nti yalina abantu abalala be yakolanga nabo kaweefube yenna okutta fayiro era yasimbibwa mu kkooti y’amagye esookerwako, Unit Disciplinary Committee (UDC) ekulirwa Col. Tom Kabuye ne bamusomera emisango ne bamusindika mu kkomera ly’amagye e Makindye gy’akuumirwa okutuusa kati.

ISO, erina abasibe abasoba mu bataano ku by’okufa kwa Andrew Felix Kaweesi, omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva Godfrey Mambewa.

B’erina abasinga baali baserikale ba Flying Squad kyokka tekinnasalibwawo ddi lwe balitwalibwa mu kkooti. Abasinga bagenda kuweza mwezi mulamba mu kaduukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walukagga ne muwala we e Maya.

Omuyimbi Walukagga awonye o...

Omuyimbi Mathias Walukagga alula. Ku Mmande, Walukagga yasiibye ku kitebe kya poliisi e Bukoto ekya Crime Intelligence...

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...