TOP
  • Home
  • Agookya
  • Museveni aloopye ababbye ettaka lye e Kisozi

Museveni aloopye ababbye ettaka lye e Kisozi

Added 5th July 2018

NG’OKYAKAABA ekibbattaka ekiri mu ggwanga, ate wulira bino. Akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire kategeezeddwa nti waliwo abasitukidde mu ttaka lya Pulezidenti Museveni kw’alundira ente e Kisozi ne balibba.

BYA ALICE NAMUTEBI

Bano ku sikweya mayiro emu Museveni gy’alina, bakutuddeko yiika 300 era balina n’ekyapa kyalyo.

Museveni yayise mu maneja wa faamu ye Kisozi, Frolence Kamatenesi n’atwala okwemulugunya mu kakiiko akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka ng’asaba bamuyambe bakwate ababba ettaka lye.

Ettaka lino liri ku kasozi Katwekambwa mu ggombolola y’e Maddu, mu disitulikiti y’e Gomba.

Ensonga Kamatenesi yazitegeezezza bakamisona Robert Ssebunya ne Fredrick Ruhindi nga batalaaga disitulikiti ye Masaka, Lyantonde, Ssembabule ne Gomba. Kamatenesi yagambye, “Museveni tasobola kwereeta butereevu n’aloopa mu kakiiko k’ettaka kamuyambe.

Abantu bayitirizza okumulinnyirira nga baagala okubba ettaka lye y’ensonga lwaki tusaba akakiiko ka Bamugemereire naye kamuyambe kanoonyereze ku bantu abamubba.

Yagambye nti ababba Museveni beetuuma amanya nga Congo, Byamukama ne Katende Sseggane nga bano bagamba nti be bannannyini ttaka eriwezaako yiika 300.

Yagambye nti baamuweerezza n’ekiwandiiko ekiraga nti balina ekyapa ku ttaka nga kyabaweebwa ofiisi y’ettaka e Mpigi nga October 9, 2016 kyokka nga ne Museveni alina ekyapa ku ttaka lye limu ekya sikweya mayiro emu.

“Bano si be bokka abagezezzaako okubba ettaka lya Museveni. Mu 2013 waliwo abantu abalala abajja nga baagala okulipunta bafune lye basalako kyokka bwe baalaba weema z’amagye ku ttaka ne badduka era tetuddangamu kubalaba,” Kamatenesi bwe yagambye.

Ettaka Museveni yaligula ku bantu ba njawulo okuli omugenzi Bitali, Walugembe n’abalala era ebiwandiiko byonna abirina.

N’ayongerako nti, “Nsaba akakiiko kayambe Museveni kanoonye abafulumya ebyapa eby’emirundi egisukka ogumu ku ttaka lye kubanga obubbi n’obufere buyitiridde.

Waliwo n’abaamagye abajja ku ttaka nga bagamba nti libaweereddwa akakiiko ka UPDF akamanyiddwa nga ‘NEC’ kyokka bwe baategeera nti ettaka lya Museveni tetwaddamu kubalabako.” Kamatenensi olwamaze okutegeeza akakiiko ensonga za pulezidenti, kamisona Ruhindi n’alagira abakugu b’akakiiko abakola ku by’okunoonyereza bamuggyeko sitetimenti asobole okuggulawo omusango mu butongole akakiiko kafune we katandikira.

Abatuuze era basabye akakiiko kategeeze Museveni agobe RDC w’e Gomba Fred Nayebale Kyamuzigita gwe balumirizza nti y’avaako emivuyo gyonna ku ttaka.

Bano baakulembeddwa Stanley Kaluta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...