TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu 3,000 e Ggaba basuliridde okusengulwa NEMA

Abantu 3,000 e Ggaba basuliridde okusengulwa NEMA

Added 6th July 2018

ABAKULEMBEZE mu munisipaali y’e Makindye nga bakulembeddwaamu ababaka baayo mu Palamenti okuli Ibrahim Kasozi ne Allan Ssewanyana , loodi meeya Erias Lukwago ne meeya w’e Makindye Ali Nganda Mulyannyama baagumizza abatuuze b’e Ggaba ku nsalesale ow’ennaku 21 eyayisibwa ekitongole kya NEMA okwamuka ku ttaka ly’olutobazzi.

 Abatuuze mu lukiiko lwe baakubye okwemulugunyiza abakulembeze baabwe.

Abatuuze mu lukiiko lwe baakubye okwemulugunyiza abakulembeze baabwe.

Bano baasinzidde mu lukiiko olwetabiddwaamu bassentebe b’ebyalo ,bakansala n’abatuuze okuva ku byalo bisatu okuli Katogo, Lower Mabanga, Munyonyo ne Kiruddu-Buziga ku Lwokuna abagambibwa okwesenza mu lutobazzi.

Olukiiko luno lwabadde lusuubirwa okwetabwamu minisita wa Kampala, Betty Kamya n’abakungu okuva mu NEMA wabula tebaalabiseeko ekyayongedde okutiisa abatuuze.

Abatuuze bagamba nti ettaka lino baaligula nga balina n’endagaano ate ne LC zaabwe gavumenti LC ezimanyi nga beewuunya engeri NEMA gyetuuse okubeefuulira.

Omubaka Allan Ssewanyana yasabye gavumenti okusooka okulaga abantu bano we bagenda okudda nga tennaba kubamenya kubanga nabo bannayuganda. Ate ye omubaka Ibrahim Kasozi yasabye NEMA ekomye okunyigiriza abanaku wabula esooke emenye ebizimbe by’abagagga nabo abaazimba mu lutobazzi.

Lukwago yagumizza abatuuze era n’abasaba okusigala nga bali bumu okusobola okwerwanirira.

Meeya Mulyannyama yagambye nti buvunaanyizibwa bwa gavumenti okuteekerateekera abantu n’okubayamba wabula bw’eteka amaanyi mu kubatulugunnya kiteeka ebyokwerinda by’eggwanga mu katyabaga.

Hussein Ssentongo, ssentebe wa Lower Mabanga yagambye nti olukiiko luno terwavuddemu kye yabadde asuubira n’abatuuze be olw’abakulembeze okuva ku mulamwa ne badda mu kwekuuttira akadingidi n’okubasuubiza ebitasoboka.

Mu kiseera kino ebula ennaku munaana, NEMA okuteeka mu nkola ekiragiro kyayo ng’abatuuze abasoba mu 3,000 ku byalo bino be boolekedde okusengulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.