TOP

Mmengo efunye eddwaliro eritambula

Added 7th July 2018

Mmengo efunye eddwaliro eritambula

 Eddwaaliro eritambula Abaganda ababeera mu Amerika lye batonedde Obwakabaka.

Eddwaaliro eritambula Abaganda ababeera mu Amerika lye batonedde Obwakabaka.

MMENGO ereese eddwaaliro eritambula ery’omulembe nga lino lyamazeewo mitwalo gya ddoola mu kaweefube w’Obwakabaka okutumbula ebyobulamu bw’abantu baabwo. Eddwaaliro lino eritambula lirimu ebitanda bina, ekifo awakeberebwa abalwadde nga lyakutalaaganga ebitundu eby’enjawulo naddala mu nsiisira z’ebyobulamu ezinaakubwanga Obwakabaka, okujjanjaba abantu. “ Eddwaaliro lino ligenda kutumbula ebyobulamu mu Buganda nga lyongera ku muwendo gw’abantu abajjanjabibwa ate n’okufuna obujjanjabi mu ngeri ennungi.

Wadde liri mu ngeri ya bbaasi naye omuntu waakuyingiranga mu kasenge nga bw’ayingira mu ddwaaliro ezzimbe,” Dr. Ben Mukwaya, minisita w’ebyobulamu e Mmengo bwe yannyonnyodde. Bannayuganda abeegattira mu kibiina ki Buganda Bumu North American Convention be baasonze ensimbi ezaaguze eddwaaliro lino ng’essaawa yonna Kabaka waakulitongoza okutandika okuwereeza Bannayuganda.

Dr. Mukwaya yategezezza Bukedde nti Obwakabaka bulina enteekateeka y’okuzimba amalwaliro ana (4) mu masaza ag’enjawulo okuli e Ngando- Butambala nga wano Hajj Kaaya yawa Obwakabaka ettaka kuzimbibweko eddwaaliro, Mawokota, Ssingo ne Kyaggwe ate mu masaza okuli Buddu ne Buluuli banaatera okumaliriza enteekateeka z’okufuna ettaka okuteekebwa amalwaliro.

“ Tulina n’enteekateeka y’okuzimba eddwaaliro eddene nga lino lyakukola ku ndwadde enkambwe era pulaani zaalyo tukyagenda mu maaso n’okuzeekenneenya ate n’okufuna ekifo ekituufu we linaabeera.” Dr. Mukwaya bwe yagambye Wabula mu kiseera kino, Obwakabaka bwefunyiridde mu kukola emisomo, okwogera n’abantu ku mikutu gy’empuliziganya egy’enjawulo ku nsonga ezikwata ku byobulamu era nga mu myaka etaano egiyise abantu abasoba mu 60,000 be bajjanjabiddwa mu nsiisira z’ebyobulamu ezitegekebwa Mmengo.

Bwobuulirira abantu ku byobulamu weesanga ng’ebitundu 75 ku buli 100 eby’endwadde obeera osobola okuziziyiza,” Dr. Mukwaya bwe yayongeddeko.

MMENGO EYANUKUDDE KU KY’EKYUMA KYA SUKAALI N’AMALWALIRO

Ku kirowoozo kya bamusigansimbi okuva mu ggwanga lya United Arab Emirates okuzimbira Obwakabaka amalwaliro 18 ebyafulumiziddwa Bukedde, Dr. Mukwaya yategeezezza nti enteekateeka eno teyaliiko nkola nnuhhamu gye gaalina okutambuzibwamu. “ Amalwaliro ge namanyaako kuliko ery’e Nsangi ne Kalasa wabula nga tegaliiko ntegeka za kugatwala mu maaso.

Abantu abaali mu nsonga eno tebaagitambuza bulungi kyokka emabegako ng’eggwanga eryo lironze omubaka mu Uganda, namuwandiikira ku nsonga zino ze nali mpulira bwatyo n’antegeeza nti kaanoonyereze ku nsonga eno era nninze kinaavaayo,” Dr. Mukwaya bwe yannyonnyodde.

Okusinziira ku kunoonyereza Bukedde kwe yakoze, ddiiru y’amalwaliro gano yalimu Sheikh Ali Kassim Kintu ng’ono ye yali omukwanaganya w’ekitongole kya Red Crescent abaali betegese okuzimba amalwaliro gano naye wadde Pulojekiti yali esuubirwa okukolebwa ku ttaka ly’Obwakabaka, abaagiruka be baali ab’okusigaza obuvunaanyizibwa ku buli kimu ekyali kikolebwa.

Omwogezi w’Obwakabaka era Minisita w’amawulire e Mmengo yasambazze ebigambo ebyayogeddwa eyaliko Minisita mu Ofiisi ya Katikkiro wa Buganda, Israel Mayengo mu mboozi ezifulumizibwa Bukedde ku myaka 25 egya Ssaabasajja ng’alamula nti Obwakabaka bwalina enteekateeka y’okukola kkampuni ekola ssukaali eyitibwa Kasubi Sugar kyokka obukulembeze bwa Mmengo ne bugituulira. “ Tewali mu ofiisi yonna wano e Mmengo w’oyinza kusanga kiwandiiko kyonna ekikwata ku kirowoozo kya Kasubi Sugar era tewali fayiro yatukwasibwa ng’eyogera ku nsonga y’emu.

Tusaba Mayengo bw’abeera alina obuwandiike bwonna ku kirowoozo kino abuleete kubanga tetusobola kutuulira nteekateeka nnungi bwetyo ng’ate tuli ku kaweefube waakutumbula mbeera z’abantu ba Kabaka okuyita mu kubafunira emirimu,” Kiyimba bwe yatangaazizza ku nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...