
Abakungubazi nga bawereekereza poliisi ebigambo.
POLIISI erinnye eggere mu kuziika omuvubuka atankanibwa enfa ye nga kigambibwa nti yatugiddwa ne bamusuula mu nnyanja okubuzaabuza obujulizi, era yeezoobye n’abakungubazi okubaggyako omulambo okugutwala okugwekebejja.
Poliisi y’e Kammengo y’eremesezza abakungubazi okuziika omulambo gwa Paul Ssempala 18, abadde yatwalibwa mu bitundu by’e Ntebe okukola wiiki bbiri eziyise kyokka ne bakomyawo mulambo. Bino bibadde Kabira mu ggombolola y’e Kammengo mu Mpigi.
Ssempala babadde baakamutwala okukola omulimu gw’okutunda edduuka e Kigungu mu Ntebe kyokka ne bamukomyawo nga bagamba nti yabadde avuba n’agwa mu nnyanja. Kino kiggye jjajjaawe, Tomas Ntege mu mbeera n’atemya ku poliisi nga batandise okusabira omwoyo gw’omugenzi baziike mu bwangu.
Poliisi yabasinzizza amaanyi n’egubaggyako ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa. Poliisi yasoose kubabuuza ekyasse omugenzi wabula ne batamattama nti yabadde avuba kyokka oluvannyuma ne bategeeza nti abadde alunda nte ekiwalirizza poliisi okugubaggyako nga beekengedde nti wandibaawo ekikyamu kubanga baamusaba nnyina, Teopista Nakataaba nti agenda kukola mu dduuka.
Nakataaba ategeezezza poliisi nti mutabani we yakoma okumukubira ku Ssande ya wiiki ewedde ng’alaajana nti bagenda kumutta essimu n’ekutuka teyaddamu kumuwuliriza okutuusa ku Lwokusatu bwe baamukubidde nga bamutegeeza nti yagudde mu nnyanja ng’agezaako okuwuga n’afa. Abooluganda abamu baategeezezza nti omugenzi yatugiddwa ne bamusuula mu nnyanja okubuzaabuza obujulizi