TOP

Abagenda okuwozesa Kayihura babalayizza

Added 10th July 2018

Lt. Gen. Andrew Gutti olumaze okulayizibwa ku kisanja kye ekyokusatu mu kkooti y’amagye n’alangirira nga bwe waliwo ekipya ekijja wiiki ejja.

 Lt. Gen. Andrew Gutti

Lt. Gen. Andrew Gutti

Gutti yalayiziddwa ku Mmande ne bannamagye abalala 16 bwe bagenda okuddukanya emirimu mu kkooti y’amagye e Makindye.

Ono yalondebwa Pulezidenti mu June omwaka gwa 2016 okumalako ekisanja kya Maj. Gen. Levi Karuhanja eyafa mu April wa 2016. Mu June wa 2016 yalayira ekisanja kye mu butongole era ng’eggulo yakutte kisanja kye ekyokusatu nga ssentebe wa kkooti eyo.

Gutti yalayiziddwa omuwabuzi wa kkooti eno mu by’amateeka Col. Richard Tukachungurwa era ng’ono y’omu ku bapya abaalondeddwa okukola naye mu kisanja kino.

Abalala abaalondeddwa kuliko; Brig. Joseph Arocha, Maj. Sarah Navuga, Maj Henry Sserugo, Capt. Teopisita Girama Opar, Capt. Paul Mugerwa, W01 Paul Kamya, Col. Jame Rubahika, Maj. David Mbabazi Karyabashihsa, Maj Frank Tumwesigye ne W01 Jimmy Omara.

Oludda oluwaabi lwakukulirwa Maj. Raphael Mugisha nga waakuyambibwako Capt. Samuel Masereje ne Lt. Ambrose Baguma.

Wabula Gutti bw’abadde asiibula bannamawulire abaabadde basigadde nga bakuba ebifaananyi mu Kkooti eno abategeezezza nti wiiki ejja temugisubwa kuba esuubirwa okusabuukulula ekipya akaseera konna.

Kino bannamawulire baafulumye kkooti nga buli omu agamba nti ndowooza Gen. Kale Kayihura y’ayinza okulabikako.

Akakiiko ka kkooti bwe kaabadde tekannaba kulayizibwa, waasooseewo akafubo akatakkiriziddwaamu bannamawulire era nga kaakulungudde essaawa ezisoba mu ssatu kyokka oluvannyuma kyazuuliddwa nti omuwabuzi wa kkooti mu by’amateeka Col. Katinda yabadde akwasa Col. Tukachungurwa eyamuddidde mu bigere w’ofiisi n’okumuyitiramu buli kimu nga bwe kirina okutambula.

Okulayira olwawedde abantu bonna okwabadde n’abaamawulire baalagiddwa okufuluma abaalondeddwa ku kakiiko ne baddamu okwenvumba akafubo.

Oluvannyuma kyategeerekese nti baabadde bagabanyizibwa buvunaanyizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Nuhu Muzaata.

Kitalo: Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga November 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu...

Sheikh Muzaata

Kitalo Sheikh Muzaata afudde

 KITALO SHEIKH MUZAATA AFUDDE Kitalo! Sheikh Nuhu Muzaata Bbate afudde!. Ono abadde mu ddwaaliro ya International...

Harriet Nakwedde eyagenze okulambula ku Bukirwa mu ddwaaliro.

Maama eyakubwa ttiyaggaasi ...

MAAMA w'abaana Justine Bukirwa 45, eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi mu mbugo ne kamwabikiramu, avundira mu kalwaliro...

Basajja ba Bobi be baakubyemu ttiyaggaasi nga babuna emiwabo.

Nobert Aliho musajja wa Bob...

Abawagizi ba Bobi Wine ababadde batambulira ku kabangali bakiguddeko poliisi bwebakubyemu obukebe bwa ttiyaggaasi...

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...