TOP
  • Home
  • Agawano
  • Kanyankole akkirizza mu kkooti okutta omuntu

Kanyankole akkirizza mu kkooti okutta omuntu

Added 10th July 2018

KANYANKOLE ng’amannya ge amatuufu ye Ronald Asiimwe omu ku baasooka okukwatibwa ku musango gw’okutta Suzan Magara awuniikirizza Kkooti Enkulu etuula e Nakawa bw’akkirizza emisango gy’okutta omuntu n’okubbisa eryaanyi egyamuggulwako mu mwaka 2010.

 Kanyankole

Kanyankole

Kanyankole emisango agikkiririzza mu maaso g’Omulamuzi Stephen Mubiru ng’agiriko ne banne okuli; Robert Sempebwa amanyiddwa nga Kazahura ne Bob Kibirango kyokka bano ne bagyegaana.

Mu misango gino bavunaanibwa ne bannaabwe abalala abatannakwatibwa okwekobaana ne batta William Nkata eyali abeera e Kitebi mu disitulikiti y’e Wakiso ne babba emmotoka ye Toyota Ipsum UAM 227S nga bino byaliwo nga August 7, 2010.

Kanyankole yategeezezza kkooti nti, nga August 7, 2010, Nkata yasimbula mu maka ge e Kitebi ng’agenda okutunda ettaka.

Yamuyimiriza n’amutegeeza nga bwe waliwo ettaka eritundibwa e Nakigalala e Kajjansi era yakkiriza ne bagenda naye mu mmotoka.

Wabula baali banaatera okutuuka e Zzana ku luguudo lw’e Ntebe, waliwo abantu abalala babiri abaabeegattako era ne bavuga nga bagenda mu maka ga Kazahura e Nakigalala eno gye baasanga Kazahura)n’omuntu omulala.

Baavuga nga boolekera ffaamu y’omubaka Nabirah Naggayi Sempala e Buwama kyokka baali tebannatuuka, omusajja omu gwe baali naye mu mmotoka n’amutuga era omulambo gwe ne bagutwala ne baguziika mu limbo y’e Bukasa mu munisipaali y’e Kira e Wakiso.

Aisha Nankabirwa ng’ono ye nnamwandu wa Nkata bwe yalaba nga bba takomyewo, yagenda ku poliisi ya CPS n’aggulawo omusango gw’okubula kwa bba.

Poliisi yakola okunoonyereza n’ekwata abantu ab’enjawulo nga mu bano mwalimu ne Kanyankole kubanga ono gwe baasemba okulaba n’omugenzi.

Bwe baabakunya yakkiriza era n’atwala poliisi gye baazika Nkata mu limbo y’e Bukasa ng’omulambo gwe gwasangibwa gwokeddwaako ebitundu eby’enjawulo Era yayambako ne poliisi okuzuula emmotoka ya Nkata.

Baagisanga okumpi ne bbanka ya Pride Microfinance e Makindye nga bagikyusizza nnamba puleeti nga bataddeko UAK 835R.

Omuwaabi wa Gavumenti Florence Kataike asabye kkooti emwongere obudde aleete obujulizi obulala wabula n’asaba kkooti esibe Kanyankole okuva ku myaka 15 n’okudda waggulu kubanga yazza emisango gino ng’akyali muto.

Wabula looya wa Kanyankole, Ricahard Kumbuga yasabye kkooti ewe Kanyankole ekibonerezo ekisaamusaamu kubanga yazza emisango gino muto nga banne be yali nabo be baali bamusalirawo era yayambako poliisi okuzuula omulambo gwa Nkata wamu n’okukwata abamu ku bantu be yali nabo mu butemu buno.

Ayongedde n’ategeeza nti bazadde ba Kanyankole baafa ng’akyali muto nga wa myaka esatu n’agenda ku nguudo eno gye yeegattira ku bibinja by’ababbi ab’omutawaana era n’atafuna kuwabulwa kuva mu bazadde .

Kanyankole bwaweereddwa omukisa okubaako kyayogera nga tebannamuwa kibonerezo yagambye nti bamuwe ekibonerezo ekitono kubanga ebbanga lye yamala mu kkomera e Luzira yabonerera n’alokoka, obubbi n’obutemu.

Era ne bwe baamuyimbula ku kakalu ka kkooti mu mwaka 2015, yali ayambako poliisi okulwanyisa obumenyi bw’amateeka kyokka ne baddamu okumukwata ku misango emirala.

Omulamuzi waakumusalira ekibonerezo kye nga July 11,2018 era n’amusindika ku limanda mu kkomera e Luzira ne banne bwe bali ku musango guno okuli Kazahura ne Kibirango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

Minisitule y'ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n’ab’ebibiina...

Zzimula n'embuzi ze.

EMBUZI GYE BAMPA MU MUSOMO ...

ZZIMULA , mutuuze w’e Busega Kibumbiro zooni B mu munisipaali y'e Lubaga mu Kampala. Muluunzi wa mbuzi era yazizimbira...

Aikoru n'abaana baabadde atulugunya.

Abadde asuza abaana mu kaab...

OMUKAZI Juliet Aikoru ow’e Kazo Angola akwatiddwa ng’abadde amaze ebbanga ng’atulugunya abaana ba muggyawe be yalekera...