TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Wuuno avuddeyo okwogera bonna abaali mu lukwe lw'okutta Kaweesi

Wuuno avuddeyo okwogera bonna abaali mu lukwe lw'okutta Kaweesi

Added 12th July 2018

Wuuno avuddeyo okwogera bonna abaali mu lukwe lw'okutta Kaweesi

 Kaweesi ku kkono ate ku ddyo ye Kitagenda agenda okulumiriza abatta Kaweesi

Kaweesi ku kkono ate ku ddyo ye Kitagenda agenda okulumiriza abatta Kaweesi

EYALI omuserikale wa Flying Squad Abel Kitagenda avuddeyo n’ategeeza amagye nti webituuse mwetegefu okulumiriza abaali bakamaabe mu kitongole kya Flying Squad ne mu bitongole ebirala ku by’okutta AIGP Andrew Felix Kaweesi .

Kitagenda yakwatibwa ku ntandikwa ya June ab’ekitongole kya ISO ekikettera munda mu ggwanga ne CIM ekiketta mu magye ku by’okutta Kaweesi bwe yali akola ku bya paasipooti adduke mu ggwanga okugenda e Canada.

Baamukwatira ku luguudo Nasser mu Kampala ku dduuka lya mwannyina. Ng’amaze okukwatibwa, ensonda zaategeeza nti aba ISO teyabakaluubiriza n’ababuulira by’amanyi ku kutemula Andrew Felix Kaweesi era kino kigambibwa nti kyayamba amagye ne ISO okukwata abaali bakamaabe okuli AC/ Herbert Muhangi eyali aduumira ekitongole kino, Col , Atwooki Ndahura, Faizal Katende (gwe baddamu okukwata), Moses Kasibante n’abalala okuli n’eyali omuyambi wa Gen. Kayihura Jonathan Baroza amagye gwe gali mu kuyigga eyabulira mu Algeria.

Ensonda zaategeezezza nti ISO bwe yamaze okusunsula mu bagambibwa okumanyaako ku batta Kaweesi, Kitagenda kwe baatandikidde ne bamuggya e Kyengera gy’abadde akuumirwa ISO mu makomera gaabwe (Safe Houses) ne bamukwasa aba CMI ne bamukuumira e Kireka.

Kitagenda n’ategeeza nti kati eby’okusirika abivuddemu kaayogere buli omu kye yakola mu kutemula Kaweesi ekyo nakyo kiveewo. Kigambibwa nti Kitagenda yagambye nti ye ng’eyamanya ku nkiiko ezateesa ku by’okutemula Kaweesi, tajja kukaluubirirwa kwogera buli omu kye yakola n’obuvunaanyizibwa bwa boofiisa bano kinnoomu kuba kati eby’okusaaga biweddewo.

Kigambibwa nti Kitagenda yali mu kintu ky’okutta Kaweesi era ye yasooka awaka wa Kaweesi ku lunaku lwe yatemulwa mu bukambwe ne yeetoolola n’apima buli kyetaagisa n’ebifo abatemu we banaayimirira.

Ekyaddirira kwali kuyimiriza mmotoka ya Kaweesi bwe yali yaakava ewuwe olwo abatemu ne batandika okumuyiira amasasi. Ng’amagye geetegekera okumaliriza okunoonyereza ku misango egigenda okuvunaanibwa bano era nga n’olukiiko lwa kkooti eno olukulirwa Lt. Gen. Andrew Oguti lumaze okulayizibwa, amagye gaamatizza Kitagenda n’akkiriza okulumiriza abasajja bano na buli omu omulimu gwe yakola mu kutta Kaweesi. Mu kiseera kino, tekinnamanyika oba Kitagenda bw’amala okulumiriza boofiisa bano ye banaamuleka n’akunnumba oba bagenda kumuvunaana ne banne.

Ensonda mu byokwerinda zaakakasizza nti buli Kitagenda ky’abadde ababuulira bakigerageranyizza n’obujulizi bwe bazze bakung’aanya ne bazuula nga bikwatagana era abayambye nnyo okuzuulira ddala ekituufu ku byaliwo nga March 17, 2017, Kaweesi lwe yatemulwa ng’ava ewuwe e Kulambiro n’ebizze bibaawo ng’omusango gwe guvulugibwa n’okupanga obujulizi.

Mu ngeri y’emu, amagye galiko abantu abalala abaakwatibwa ne bakuumibwa nga bakyama nga bano babayambye okuzuula omusamize gye baatwala omusaayi ogwayoolebwa Kaweesi n’abakuumi be we battirwa. Omusawo yakwatibwa kyokka ng’ekifo ekituufu gy’akuumirwa tekinnamanyika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...

Ategeka (mu ssuuti) n’Abakristu b’e Namataba nga balambula omulimu gw’okuzimba Klezia.

Klezia y'e Namataba yaakuma...

ABAKRISTU b'ekisomesa kya St. Charles Lwanga e Namataba - Kirinya mu Divizoni y'e Bweyogerere basabye abazirakisa...