TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gen. Tumwine ayingidde mu lutalo lwa lufula ya Port Bell

Gen. Tumwine ayingidde mu lutalo lwa lufula ya Port Bell

Added 12th July 2018

Gen. Tumwine ayingidde mu lutalo lwa lufula ya Port Bell

 Fred Magezi (ayogera) okuva mu ofiisi ya minisita w’ebyokwerinda, Ssentebe wa CATDA Abbey Mugumba (wakati), n’omuwandiisi wa CATDA Med Nsubuga (ku ddyo).

Fred Magezi (ayogera) okuva mu ofiisi ya minisita w’ebyokwerinda, Ssentebe wa CATDA Abbey Mugumba (wakati), n’omuwandiisi wa CATDA Med Nsubuga (ku ddyo).

ABATEMI b’ennyama mu lufula y’oku luguudo lwa Old Port Bell, nga bayita mu kibiina kyabwe ekya City Abattoir Traders Development Association (CATDA), baweze okulemesa omuntu yenna anaagezaako okutabangula emirembe ng’abagoba mu lufula eno.

Baabadde mu lukiiko lwa bonna olwetabyemu Fred Magezi eyakiikiridde minisita w’ebyokwerinda, Gen. Elly Tumwine, omuduumizi wa poliisi mu buvanjuba bwa Kampala RPC Micheal Musani, omukwanaganya wa poliisi n’omuntu waabulijjo mu kitundu ky’obuvanjuba bwa Kampala, ASP Victoria Namuli Tamale n’abalala okuva mu bitongole eby’ebyokwerinda. “Waliwo ekiwayi ky’abaali bakinjaaje bannaffe abaasiiwuuka empisa ne bakwata ebissi okuli emmundu, ejjambiya, emiggo, obutayimbwa n’ebirala ne batulumba.

Tebaakoma awo bawa ne ssentebe waffe obutwa ne batutegeeza nti, baagala kudda kyokka tumanyi bigendererwa byabwe era bayinza okuba nga abaagala kuzza Basajjabalaba eyali atunze lufuna eno basseewo”, Ronnie Nsubuga omu ku bajinjaaje bwe yategeezezza.

Yeegattiddwaako abasuubuzi abalala, ne bagamba nti tebasobola kukkiriza bantu be bamanyidde ddala nti ebigendererwa byabwe bya kutabangula kifo kyabwe okubazza bakole nabo. “Bwe baba nga babadde batutigomya, okutukolako efujjo, okutukuba emiggo, okutuwa obutwa n’ebirala nga bava bweru, olwo bwe tunaabayingiza okutandika okukola naffe kinaaba kitya?

Bagende bakolere mu lufula endala”, bwe baagambye. Ssentebe wa CATDA Abbey Mugumba agambye nti ekibayisizza olukiiko kuno bakooye okuggulwangako emisango gy’ekimpatiira ate nga bakimanyi bulungi nti, okugobwa baamala kumenya mateeka agassibwawo. “Tulina amateeka agatuluhhamya ng’abakinjaaje kuba omulimu gwaffe twetooloolera mu bissi okuli ebyambe, ebiso n’embazzi ebisala singa tetubeera na mateeka ate agagobererwa tusobola okufuna abantu abatuusa ku bannaabwe obulabe ekiseera kyonna”, Mugumba bwe yayongeddeko.

Ayongeddeko nti, bwe baba vagala okusonyiyibwa, amakubo amatuufu ge balina okukwata bagamanyi beenenye basonyiyibwe. Omuduumizi wa poliisi mu buvanjuba bwa Kampala RPC Musani, agumizza abakinjaaje nti, poliisi n’ebitongole byonna ebikuumaddembe bagenda kukakasa nga bakuuma emirembe wabulewo abatabangula n’okulemesa abasuubuzi okukola emirimu gyabwe.

Atwala ebyokwerinda mu Kampala mu minisitule y’ebyokwerinda era akiikiridde minisita Gen. Tumwine yasuubizza nti, bagenda kussaawo olukiiko olulala okugatta ebiwayi byombi era n’awa abakinjaaje magezi okulaba nga bakwatagana n’abantu abalala bonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...