TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto wa Kabakanjagala okwongera amaanyi mu basirikale b'omubiri

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto wa Kabakanjagala okwongera amaanyi mu basirikale b'omubiri

Added 12th July 2018

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto wa Kabakanjagala okwongera amaanyi mu basirikale b'omubiri

 Kabakanjagala omubisi nga bw’afaanana.

Kabakanjagala omubisi nga bw’afaanana.

ABANTU bangi baali bawulidde ku muti gwa Kabakanjagala kuba gwa byafaayo mu Buganda era gwaleetebwa Sir Apollo Kaggwa wabula ne gukyaka nnyo ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II kubanga yalina ekirooto ky’okugukolamu amafuta g’emmotoka.

Kye yava yayagala okugubunya Buganda ne Uganda. Kino yakikola ng’awa abantu abajjanga okumukyalira ensigo okugenda bagusimbe era bwe baavanga mu Lubiri nga bagenda batendereza nti, ‘Kabakanjagala’ awo we wava erinnya ly’omuti ogwo. Era omuti gwe gumu kwe kuva ensigo abaana ze bazannyisa dduulu. Okugujjukira amangu, omuti guno gwasimbibwa ku luguudo olutunudde mu Wankaaki w’olubiri lw’e Mmengo ne mu Bulange.

Era KCCA bwe yatema emiti gino ng’ekola oluguudo olwalumaliriza n’erusimbako emiti emirala era kwegiri ku luguudo lwe lumu kwe kuteereddwa ebibumbe by’ebika, emiti egyo egiriwo gye bayita Kabakanjagala. Leero kanjogere ku nsigo za Kabakanjagala atazimanyi zeezo abaana ze bakozesa nga bazannya dduulu.

Ensigo zino zikaluba kyokka bw’ogyasa munda mulimu ekimere ekyeru ekirimu amasavu. Osobola okukikamulamu omubisi n’ogukozesa ebintu ebitali bimu ate mwattu zaaka ky’ova olaba nga zisobola okuvaamu amafuta aga ‘Bio Diesel’ era tugakola.

Butto wa Kabakanjagala atangira omusana okukuyisa obubi ku lususu ssinga oba ogubeeramu ekiseera ekiwanvu. Kino kitegeeza bannamagoye zibayamba olw’ensonga nti omusana gubayisa bubi.

 

Ayidde oba alina ekiwundu, akuyamba okukikaza mubwangu.

Ayamba enviiri obutakutuka ng’osanirira ate kw’alina eza kaweke azigonza n’okuziggyamu situka.

Ayamba mu kugoba mugaba mu bakyala n’abaami.

Ayamba ku bantu abakubiddwa kisipi, ssinga omusiigawo ayamba okumugoba n’okukaza amabwa ago.

Butto wa Kabakanjagala ayamba okwongera amaanyi ku baserikale abakuuma omubiri. Ayamba ku baana abafuukuuse olususu ne batereera.

Butto wa Kabakanjagala agonza amaliba g’ensolo nga ente ne kyanguyiza abagakolamu ebintu eby’enjawulo nga engatto okwanguyirwa okugaweta n’okukola dizayini ez’enjawulo. lAyamba okuwonya alusa, amabwa mu kamwa ne mu bulago naawe akukolera. Wano onywa akagiiko kamu mu mazzi agabuguma.

Akola ku biguuna, enkyakya n’enjala ezaavunda olwa kabootongo omwesiiga, wabula ku wa kabootongo omunywa ku mazzi agabuguma.

Ensigo za Kabakanjala osobola okuzikolamu ebizigo.

Aziyiza okubutuka ggwe amaze okusala ebirevu oba enviiri.

Osobola okumusiiga ku nnyingo eziruma n’alumizibwa nnakanyama.

Alina omusujja, nywayo akagiiko kamu buli lunaku ku mazzi agabuguma.

Awunya ebigere musiige mu mpataanya zaabyo, naawe alina obulwadde bw’enziku ajja kukuyamba kuba atta obuwuka obwo. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

Ekigagi kigoba situka mu nviiri     

Nga oggyeeko okuwonya omusujja, kirina emigaso emirala? Daniel Naluyamba e Jinja. Ekigagi mu Uganda bangi bakirabira mu kifaananyi kya ddagala naddala okuwonya omusujja wabula kirina emigaso mingi okuli; lKirina ekikuta kungulu ekya kiragala, kirimu ekirungo kya asap nga kino kikola ebizigo. lKirina ‘gel’ ataliimu butwa ayamba enviiri obutakutuka n’okuggyamu situka.

Ebizigo by’ekigagi biyamba abaana obutabutuka naddala olw’ebbugumu lya pampa.

Ku mukyala eyaakazaala ng’afunye mugaba ku lubuto, ekizigo kimugoba kyokka kikola ne ku mugaba omulala.

Ku bantu abakolera mu musana, kiyamba omubiri obutakosebwa nnyo musana, bw’okyesiiga toddugala.

Omuntu bw’asala enviiri n’abutuka, ebinyamanyama ku nkoona byesiige nga waakamala okusala enviiri tebijja kujja. lBiyamba okuzzaamu amaanyi mu binywa by’amabeere ne gatagwa, kuba mulimu ekirungo kya Aloin ekigumya ebinywa ate ng’amabeere okugwa kiva ku binywa kunafuwa.

Tekirina buzibu ku mwana ne bw’okikozesa ng’oyonsa.

Kiyamba okuwonya ebiwundu. Ava omusaayi mu bibuno naawe kikuyamba, bw’omala okusenya n’oyisaamu ekizigo ekyo.

Asiiyibwa olususu kikukolera n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....