TOP

Afiiriddwa omwana n'atta n'omulala

Added 13th July 2018

Afiiriddwa omwana n’atta n’omulala

 Musisi ( ku ddyo) nga yakakwatibwa.

Musisi ( ku ddyo) nga yakakwatibwa.

EKIKANGABWA kigudde e Lwamata mu disitulikiti y’e Kiboga, omusajja bw’asse omwana gw’azaala oluvannyuma lwa muto we okufa. Fred Musisi 30, akola ogwokwokya amanda ng’abeera Buswabulongo yasse mutabani we Andrew Kizito 8 abadde asoma P3 ku Friends Of Jesus Primary School e Lwamata.

Musisi ng’omukazi yamunobako, abadde asula n’abaana basatu Kizito Andrew 8 gwe yasse, Jowel Mukalazi 5 eyalwadde n’afa n’omuto John Nsubuga 3 gwe yaleseewo. Justine Ndagire 25, azaala Kizito eyatugiddwa yategeezezza nti yayawukana ne Musisi mu 2016 n’agenda ewa nnyina Christine Nakabugo. Oluvannyuma yafuna omusajja omulala n’azaala n’omwana.

Omwana omuto eyasigaddewo yategeezezza nti taata we yayise Kizito n’aggala ennyumba oluvannyuma n’afuluma ennyumba ng’alese Kizito yeebase. Ndagire yagambye nti ebbuba lya Musisi lyamweyongera bwe yazaala mu musajja omulala n’atandika n’okuwalana nnyina Nakabugo ng’akimussaako nti y’alemesa Ndagire okudda mu ddya nti era ye yamukwanira n’omusajja.

Ssentebe wa LC1 e Buswabulongo, Edward Kakwasi yategeezezza nti ku Lwokusatu yagenda ewa Musisi n’asanga ng’omwana Kizito alabika mulwadde nnyo kuba yabadde akema ekiyitiridde. Yamuwadde amagezi amutwale mu ddwaaliro Musisi n’amutegeeza nga bwe yabadde tayinza kwonoona ssente ze kuba omwana yabadde tayinza kuwona nga Nakabugo akyali mulamu.

Abakungubazi abaabadde mu maka ga Musisi baabunye emiwabo Musisi eyabadde asuubirwa okudduka bwe yafubutukidde mu mimwanyi ng’akutte ejjambiya ekyawalirizza n’abapoliisi okudda emabega ne bamuleegamu emmundu.

Yataddewo emikono n’asibwa empingu nga bw’agamba nti eky’okutta omwana nnazaala we Nakabugo ye yakimuleetedde. Omusawo wa poliisi, Ronald Kagwere yagambye nti Mukalazi yafudde bulwadde kyokka Kizito baamunyodde nsingo kuba amagumba g’omu bulago gaabadde gaawukanye. Akulira okunoonyereza ku poliisi y’e Kiboga Catherine Agwang yagambye nti Musisi agenda kuggulwako ogw’okutta omuntu. Mu kiseera kino Musisi akuumirwa ku poliisi y’e

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo