
Abatuuze b’e Kanda ku ttaka eryasendeddwa.
Ettaka lino liweza sikweya mayiro emu. Abatuuze olunwe balusonze mu Ssaabanyala Maj. Baker Kimeze nti amanyi abaagula ettaka lino ng’ate lya Gavumenti.
Bamulumiriza okuleetaba abantu ne balisibako ssehhenge nga babategeezezza nti baagala kutangira abo abaali baagala okulinyaga.
Kigambibwa nti Kimeze yazze n’abantu ne batandika okupima nga bwe basimba obuyinja n’ekyaddiridde kuleeta guleeda n’etandika okusenda ebintu byabwe.
Bwe twayogedde ne Ssaabanyala ku ssimu, yagambye nti naye abaasenze ebifo by’abatuuze tabamanyi era n’alabula buli agezaako okwonoona erinnya lye okukikomya.
Yagambye nti ye mukulembeze atasobola kukkiriza muntu kutaataaganya bantu b’akulembera.
Abatuuze baayingidde mu ssehhenge ne batandika okukuula obuyinja obwasimbiddwa mu ttaka lino.
Baabadde bategeka okwokya guleeda ya gavumenti nnamba UG 1780W eya minisitule y’enguudo eyapangiddwa okusenda ebibanja by’abatuuze poliisi n’eyingirawo n’ebalemesa.
Abatuuze nga bakulemberwa ssentebe w’eggombolola Jamada Musana ne kansala ku disitulikiti Fred Ssemyalo baalaze obutali bumativu ku ngeri amayumba n’ennimiro z’abantu bwe byasendeddwa.
Akulira poliisi y’e Kawongo, Joseph Bongo yagambye nti guleeda bagikuuma kubanga ya gavumenti. Era yasabye abatuuze okubeera abakkakkamu, kuba kijja kuggwa.