TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ofiisa abadde mu gw'okubuuliriza ku mmundu ezatta Kaweesi afiiridde mu nyonyi e Dubai

Ofiisa abadde mu gw'okubuuliriza ku mmundu ezatta Kaweesi afiiridde mu nyonyi e Dubai

Added 14th July 2018

OFIISA eyafiiridde ku nnyonyi amaze emyezi mukaaga ng’ali ku bunkenke. Mukwano gwe gw’abadde akola naye yategeezezza nti CP Wilfred Okello Makmot abadde yaakasimattuka obutwa emirundi ebiri!

 CP Wilfred Okello Makmot

CP Wilfred Okello Makmot

Okello y’abadde kaminsona avunaanyizibwa ku kulondoola emmundu entono (Light weapons) omuli piisito wamu n’emmundu ezeekigero ezigwa mu ttuluba lya “Assault Rifles” omuli ne AK47.

Kigambibwa nti y’omu ku babadde batunuuliddwa ennyo okuyambako mu musango gw’okutta AIGP Andrew Felix Kaweesi ng’awa bwino ku mmundu ezaakwatibwa ne bannyinizo. Yafiiridde mu kibuga Dubai ekya United Arab Emirates (UAE).

Omwogezi wa Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga, Jacob Siminyu, yagambye nti Okello yabadde ava mu kibuga New York ekya Amerika gye yabadde yagenda okwetaba mu lukung'aana lw’ekitongole ky’ensi yonna olwabadde lukwata ku mmundu entono.

Siminyu yagambye nti, Makmot mu lukuhhaana luno, yagendayo mu kiti ky’omukwanaganya w’emmundu entono.

Yalondebwa okugenda akiikirire Uganda kubanga olukung'aana lwategekebwa nga lukwatira ddala ku buvunaanyizibwa bw’abadde alina era ng’abukolera mu Minisitule y’ensonga z’omunda.

Olukungaana lwaliwo nga June 18, okutuuka nga June 30, 2018 era Okello bwe yavaayo yayitirako mu kibuga Florida okulaba ku booluganda lwe era n’asimbula okuva mu Amerika nga July 8, wabula n’afuna obuzibu ku nnyonyi ng’ava mu Amerika okutuuka e Dubai we yabadde alina okulinnyira ennyonyi endala emukomyawo mu Uganda era n’afiira e Dubai.

YAKASIMATTUKA OBUTWA ENFUNDA BBIRI

Mukwano gwa Okello era nga babadde bakola bombi mu minisitule y’ensonga z’omunda (yasabye amannya gasirikirwe) yasoose kutunnyonnyola engeri omugenzi gy’abadde akola emirimu gye mu bulambulukufu.

Yagasseeko nti Gen. Aronda Nyakairima bwe yaweebwa obwa Minisita nga y’abatwala, Okello y’omu ku bantu Nyakairima be yasooka okwetegereza era n’atandika okumwesiga n’okumutuma emirimu egy’enkizo.

“Kyatwewuunyisizza nnyo okuwulira nti ate munnaffe (Okello) afudde mu nfa yeemu ne mukama waffe (Nyakairima) gye yafaamu.” Mukwano gwa Okello bwe yagasseeko.

Gen. Nyakairima naye yafiira ku nnyonyi e Dubai mu 2015. Yali ava South Korea ng’akomawo mu Uganda. Okumanya enfa yaabwe efaananye, ne Nyakairima yali atambulidde mu nnyonyi ya Fly Emirates.

Lipoota eyasoose okufuluma nayo efaanana n’eya Nyakairima kubanga zombi zoogera ku musaayi kwetukuta (Blood clot). Ku kufa kwa Okello, abatali bamativu ku nfa baagala wabeewo okunoonyereza nga bagamba nti bakimanyi nti waliwo n’ebika by’obutwa ebivaako omusaayi okwetukuta ne gwesiba ne kivaako omuntu okufa, ne bw’aba nga tabadde mulwadde wa mutima oba ebirwadde ebirala.

Mukwano gwa Okello yategeezezza nti munne babadde bamwegezaamu nnyo era nti babadde baakamutega obutwa enfunda bbiri nga n’olusembyeyo lwabaddewo mu March w’omwaka guno.

Nti omulundi ogwasooka obutwa baabuteeka mu byakunywa ku mulimu, wabula omu ku bakozi eyategeera ku lukwe n’amulabula n’atabinywa ate omulundi ogwokubiri nti baabitadde mu byakulya.

Kigambibwa nti abadde anyumizaako banne nti okuva lwe yasabibwa okuyambako mu bintu bya Kaweesi naddala ebikwata ku kulondoola emmundu ezaakozesebwa abatemu, abadde ku bunkenke okutuusa lwe yafudde.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emilian Kayima yagambye nti, tebafunangako lipooti yonna ekwatagana ku bya Okello kuweebwa butwa n’agamba nti bwe kinaaba kyetaagisa, bajja kutunula mu nsonga ezo naddala nga waliyo abavuddeyo mu butongole ne bategeeza poliisi ku bye bateebereza era bye banaaba bategeezeddwa kwe banaasinziira okusalawo oba okunoonyereza kwetaagisa.

BASINDISE ABAKUGU MU UAE

Minisitule y’ensonga zoomunda mu ggwanga Okello mwabadde akolera yakwataganye ne poliisi ne basindika abakugu okwogerako n’abantu abaabaddewo nga Okello afa bakole lipoota enaawerekerwa lipoota y’abasawo.

Kayima yagambye nti, ttiimu ya poliisi n’ey’abakugu okuva mu Minisitule eriko abasawo n’aba CID abagenda okuggya siteetimenti ku bantu abaabaddewo. Waliwo n’abalala abagenda mu Amerika gye yasimbudde okwogerako n’abaayo.

Kayima yagambye nti, ttiimu egenze mu UAE, egenda kukomyaawo omulambo n’ebinaava mu kukebera ekyasse Okello nti kyokka nabo bwe banaaba batuuse kuno, bajja kuddamu okugukebera mu ddwaaliro ekkulu e Mulago balabe oba bye balina bikwatagana n’eby’abasawo e Dubai.

Dr. Sam Omala omukungu wa Uganda mu United Arab Emirates mu kunnyonnyola ebyabaddewo yategeezezza nti Okello yabadde atambulidde ku nnyonyi ya Fly Emirates eyamutuusizza e Dubai ku kisaawe era awo ne banne abalala ne babawa bbaasi eyabatutte mu kisenge we basobola okuwummulira nga bwe balinda ennyonyi egenda okubatuusa mu Uganda wabula olwatuuse mu kisenge n’atuula, awo we yakutukidde.

YASABA OKUWUMMULA NE BAMULEMESA

Okello we yafiiridde nga yaakasaba bakamabe enfunda ezisoba mu ssatu okuwummula emirimu gya poliisi nti kyokka ne bamulemesa.

Obunkenke nti bwe bweyongera okuva lwe baamukwasa ebya Kaweesi, yaddamu okupeeka bakamaabe bamukkirize awummule, wabula nga balaba akyali wa mugaso era okusaba okwo ne bakugaana.

Okusinziira ku nsonda, bwe yakizuula nti obulamu bwe buli mu matigga, olw’emmundu ezikozesebwa mu bumenyi bw’amateeka z’abadde alondoola, yasalawo okukola lipooti ye agiwe abakulu mu minisitule y’ensonga zoomunda ne mu magye awummule emirimu kyokka bakamaabe ne bamutegeeza nti tekimwetaagisa kupapa atwale obudde bwe era ne bagattako nti n’emirimu gye bakyagyetaaga nnyo.

Kayima yagambye nti, kituufu Okello yasaba okuwummula era n’akkirizibwa n’agenda mu byobufuzi ewaabwe mu Amuru kyokka bwe bitaamutambulira bulungi, yasalawo okudda mu poliisi n’asaba era ne bamukkiriza n’addamu n’akola.

Yagasseeko nti, tewali yali amulemesezza kuwummula mirimu gya poliisi nti kyokka ky’amanyi, abadde mukozi mulungi era y’ensonga lwaki ebyobufuzi bwe byagaana, bwe yasaba okudda mu poliisi tebaamugaana.

Abadde ofiisa wa poliisi wabula ng’akolera wansi wa Minisitule y’ensonga z’omunda, etwala ne poliisi.

Okusinziira ku nsonda mu magye, Okello abadde ayambako nnyo ebitongole okuli CMI ne ISO mu kunoonyereza ku mmundu ezikozesebwa mu butemu.

Mu kiseera kino, abadde atunuuliddwa nnyo okuwa lipoota ku mmundu eziri mu misango ebiri okuli ogwa Kaweesi wamu n’ogwo oguvunaanibwa Abdallah Kitatta eyali akulira Bodaboda 2010 ng’ono bamuvunaanira mu kkooti y’amagye era nga n’ebizibiti okuli pisito etali ya bulijjo byayanjulwa dda mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.

Minisita Anywar atya okutam...

AMAZZI g'ennyanja Nalubaale eyabooga ne gasalako oluguudo katono galemese Minisita okutuuka ku mwalo gw'e Kamuwunga...

Omusumba atonedde Poliisi e...

Ne yeeyama okwongera okuteekawo enkolagana eyamaanyi wakati wa poliisi n'omuntu wa bulijjo.