TOP
  • Home
  • Agawano
  • Agambibwa okuba omu ku babba bodaboda alula!!

Agambibwa okuba omu ku babba bodaboda alula!!

Added 15th July 2018

OMUVUBUKA agambibwa okuba omu ku babba bodaboda alula. Omu ku bagoba ba bodaboda amulabye ng’atudde ku pikipiki ayita mu bitundu by’omu Ndeeba n’aleekaana nti, ‘‘omubbi wuuyo, mumukwate...’’

 Omuvubuka agambibwa okuba omubbi wa bodaboda nga bamutwala ku poliisi.

Omuvubuka agambibwa okuba omubbi wa bodaboda nga bamutwala ku poliisi.

Banne baamubuuzizza nti aluwa n’abamulungeza. Baakutte pikipiki zaabwe ne bamugoba era eyabadde amuvuga yatidde okumuttira obwereere bwatyo n’ayimirira.

Ono gwe balumiriza yabadde agezaako okudduka ne bamutaayiza ne bamukuba. Yabeemuluddeko n’ayingira mu kibanda kya mmotoka abaamuwonyezza.

Baayise poliisi eyazze n’emutaasa wabula aba bodaboda baasigadde bawera nti we bamukwatirako ajja kuliyirira zonna ezabbibwa.

Yatwaliddwa ku poliisi y’e Katwe olwo naye n’afuna amaanyi naddamu okufuguma ng’awoza nti gwe yabbira pikipiki ajje amulumirize ssi kumuwaayiriza bintu bitaliimu.

Ab’e Katwe baamuweerezza ku poliisi y’e Mityana gye yaddiza omusango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...