TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Engeri gye baakubye ekituli ku lubuto lwa Nambooze okutereeza omugongo

Engeri gye baakubye ekituli ku lubuto lwa Nambooze okutereeza omugongo

Added 16th July 2018

OMUBAKA Betty Nambooze abasawo bazzeemu okumukolako era embeera etandise okuwa essuubi.

Abasawo baayisizza akuuma mu lubuto okwongera okutereeza natti eyali eseesetuse ku ggumba ly’omugongo w’akaaba nti we wasinga okumulumba.

Baakozesezza obukugu obw’enjawulo okumuwonya okuddamu okumusala olukindo olupya nga bwe baali basoose okumutegeeza ng’agenda.

Okukuba ekituli mu lubuto kiddiridde okusooka okumussa mu kyuma ky’amasannyalaze nakyo ekyasoose okutereeza natti mu mugongo.

Okusinziira ku kiwandiiko ky’aweerezza okuva e Buyindi nga kisomeddwa omuyambi we Elvis Kintu Nsonyi, kiraze nti tagenda kuddamu kulongoosebwa mugongo kubanga ekyuma ekyali kiseeseetuse kyateredde.

Ekiwandiiko kiraga nti kyokka abasawo baazudde ekizibu ekirala nti ennaku 10 ze yamala ku kitanda e Kiruddu yakosebwa eggumba ly’evviivi lye yali yeebakira ate nga lwe ludda lwe yagwira nga kabangali ya poliisi etomedde ambyulensi mwe baali bamutambuliza.

Kintu yagambye nti evviivi nalyo bagenda kulirongoosa kyokka yeetaaga ssente ezisoba mu doola 10,500 okwawuka ku zaamuweebwa palamenti.

Kintu yategeezezza nti, ekiseera kino yaggyiddwa ku kitanda ky’eddwaliro ne bamussa mu mayumba agalabirirwamu abalwadde mwe bamujjanjabira n’okumuteekateeka basobole okumulongoosa evviivi.

“Ssente za palamenti ze yamuwa tezimala kulongoosa vviivi era asaba kuyambibwa asobole okuvaayo ng’akoleddwaako bulungi”, Kintu bwe yagambye.

Okusooka Palamenti yawa Nambooze ssente ezisoba mu bukadde 100 alongoosebwe kyokka n’ategeeza nti, ezo ssente zaali zisobola okumumala nga obulwadde tebweyongedde nnyo naye oluvanyuma lw’okumala ebbanga ng’akwatiddwa e Kiruddu nazo tezimumaze.

Ekiwandiiko kitegeezezza nti Palamenti agisaba etunuulire embeera n’obunene bw’obulwadde poliisi bwe yamutuusaako emwongere ku ssente asobole okulongoosebwa n’evviivi.

Obulwadde bwa Nambooze bwattuka oluvanyuma lwa poliisi okumukwata ng’emuvunaana okukozesa obubi ssimu ye n’aweereza obubaka ku mugenzi Ibrahim Abiriga obulaga nti, bwali bukuma omuliro mu bantu ku babaka banne.

Poliisi yamuggalira e Naggalama nga mulwadde era embeera bwe yeeyongera okuba embi n’atwalibwa mu ddwaaliro e Kiruddu gyeyamala ennaku 10 ng’akeberebwa.

Oluvannyuma yakkirizibwa okutwalibwa e Buyindi mu ddwaaliro eriyitibwa Municipal Spine Centre mu Banglore India n’ekiseera kino gy’ajjanjabirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rev. Namwanja

▶️ Rev. Namwanja abuulirira...

Rev. Amos Namwanja abuulirira abazadde ku ngeri y'okukuza abaana aboobuvunanyizibwa.

Omuntu w'Abantu; Ssanyu akuleetedde Moses Matovu owa Afrigo.

▶️ OMUNTU W"ABANTU; Tukulee...

Moses Matovu owa Afrigo Band akubuulira ekimuwangaza n'akubiriza n'abantu okukola ennyo basobole okuva mu bwavu....

Wakula ng' asembeza Abakrisitaayo mu kusaba.

Omulabirizi wa Central Buso...

OMULABIRIZI wa Central Busoga  akungubagidde abadde Ssaabasumba wa Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga eyafudde...

Omugenzi Ssaabasumba Cyprian  Lwanga.

Mmanyi Lwanga okuva obuto -...

FAAZA Joseph Lugobe owa St. Agnes Kibuye-Makindye y'omu ku baludde ne Dr. Lwanga okuva obuto. Anyumirizza Margaret...

Omugenzi Ssaabasumba

Obubaka bwa Ssaabasumba bwe...

Dr. Lwanga yabadde ategese obubaka bw'okusoma ku Paasika e Lubaga. Bwasomeddwa Viika Genero wa Kampala, Msgr. Charles...