TOP
  • Home
  • Agawano
  • Vipers efuumudde Omuportugal Miguel Jorge Da Costa

Vipers efuumudde Omuportugal Miguel Jorge Da Costa

Added 17th July 2018

Tiimu y’omupiira eya Vipers, enaabidde mu maaso abadde omutendesi waayo Miguel Jorge Da Costa.

Ono okukwatibwa ku nkoona kyaddiridde olukiiko oluddukanya tiimu eno okutuula ne lusalawo agobebwe  ng’emu ku kaweefube gwe baliko ow’okukendeeza ku nsasaanya ya tiimu n’okwongera ku mutindo gw’eriko kati.

Da Costa, agenze okugobebwa nga ttiimu ya Vipers yeetegekera mpaka za CAF club competitions wamu ne Liigi.

Newankubadde agobeddwa, abakungu abatwala ttiimu eno beebazizza nnyo emirimu emirungi gy’abakoledde ekiseera ky’amaze ng’atendeka.

Miguel Da Costa, munnansi wa Portugal era ng’abadde yakatendekera tiimu ya Vipers emyaka ebiri , era ng’abayambye okuwangula ekikopo kya liigi ya wano ekya 2017/2018.

Ono era yayamba tiimu okugituusa ku mpaka zakamalirizo ez’ekikopo kya Uganda Cup, newankubadde teyasobola kumegga tiimu ya KCCA.

Kino wekijjidde nga tiimu ya Vipers ebadde yaakawandulwa mu  mpaka z’ekikopo kya Cecafa Kagame-Cup. Baawanduddwaamu ttiimu ya Gor Mahia eya  Kenya, ku mutendera gwa kwota fayinolo.

Bo abatwala tiimu eno babadde tebannavaayo kwogera ku mutendesi agenda kuddira Da costa mu bigere.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...