TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bryan White bamututteko emmotoka ye n'atunula ebikalu

Bryan White bamututteko emmotoka ye n'atunula ebikalu

Added 18th July 2018

Bryan White bamututteko emmotoka ye n'atunula ebikalu

 Poliisi ng’etwala emmotoka ya Bryan White

Poliisi ng’etwala emmotoka ya Bryan White

KU ssaawa 8.00 abaserikale ba Poliisi y’e Buziga baatuuse ku kikomera ky’omugagga Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White e Buziga. Baabadde balina ekiragiro kya kkooti ekibalagira okukwata Bryan White awamu n’okutwala emmotoka gye yagula, kyokka n’atamalaayo ssente.

Kyokka mu kikomera baavuddeyo ngalo nsa, era ensonga ne baziyingizaamu aduumira poliisi ye Kabalagala Eddie Kyeyune eyayingiddewo ne kabangali y’abaserikale abaalabise nga bakambwe okukira ennumba.

Baabadde n’emmotoka ya kasiringi ekiraga nti baabadde beetegese okusika emmotoka bagitwale ku kifuba ssinga Bryan ateekawo embeera ebalemesa. Beesozze ekikomera buto era mu kafubo akatakkiriziddwaamu baamawulire okumala essaawa nnamba, bakkaanyizza emmotoka etwalibwe, kyokka nga baagitutte bagivuga.

Bryan White yavuddeyo oluvannyuma nga yeevuga mu mmotoka ye endala ekika kya Range Rover. Emmotoka baagituusizza ku Poliisi y’e Kabalagala ne bagisimba awo, kyokka te Bryan White n’ayitawo nga bw’akongoola abantu abaabadde bakung’anye nga bamulindiridde.

YAGIGULA EZIKUNUUKIRIZA MU KAWUMBI

Bruhan Yiga yagambye nti yaguza Bryan White emmotoka ekika kya Range Rover Brabas ku doola za America 260,000 ezikunuukiriza mu kawumbi mu April wa 2018.

Wadde nga teyasooka kumusasula, kyokka yamwesiga emmotoka n’agimuwa okutuusa mu May lwe yamuwaako emitwalo 10 egya ddoola. Okuva olwo abadde amukubira essimu nga tagikwata okutuusa lwe yasazeewo okwekubira enduulu mu kkooti ne bamuwa ekiragiro ekibowa emmotoka ye awamu n’okukwata Bryan White.

SIPAPA AYAGALA KUGILA

Charles Olim amanyiddwa nga Sipapa, omuli wa ssente bwe batalima kambugu na Bryan White yatuuse mangu ku Poliisi ye Kabalagala ng’emmotoka yaakatuuka n’ategeeza nti yabadde azze okugigula. We bwazibidde nga Sipapa akyalemedde ku Poliisi ye Kabalagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu