TOP

Mzee eyagudde mu kalulu ka LC bamutomedde

Added 19th July 2018

ERUGENENSI Kateregga 87, abadde ssentebe wa LC 1, ow’e Kireka Bbira okumpi n’e Bulenga owa bodaboda amutomedde n’akosebwa nnyo.

 Mzee Kateregga

Mzee Kateregga

ERUGENENSI Kateregga 87, abadde ssentebe wa LC 1, ow’e Kireka Bbira okumpi n’e Bulenga owa bodaboda amutomedde n’akosebwa nnyo.
 
“Owa bodaboda nkakasa waliwo eyamutumye n’antomera ng’aggyeeko amataala”, Kateregga bwe yategeezezza.
 
Katereega mu kiseera kino ali mu kunyiga ebiwundu, agamba nti ku Lwomukaaga yakeera okuva awaka n’agenda e Mengo n’e Namasuba okubanja abapangisa n’akomawo nga buwungedde.
 
Ayongerako nti yabadde amaze okusala ekkubo ng’akkirira ewuwe ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ne bamutomera n’avaamu omusaayi olw’ebisago bye yafunye.
 
Yatungiddwa wuzi nnya mu kalwaliro ka Care Medical Centre e Bulenga.
 
Okumanya Kateregga yatidde, yagambye nti, “Ebyobufuzi mbivuddemu n’omusango gw’okumpangula mu kulonda kwa LC mwe banzibira ngulese hhenda kulya ssente zange ze nakola edda kubanga zo nzirina.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...