TOP

Kayihura avuddemu omwasi ku by'okutta Kaweesi

Added 19th July 2018

ABAKUNGU abakkiriziddwa okulaba Gen. Kale Kayihura mu kkomera boogedde bye yabattottoledde n’abalaga n’ebisinga okumuluma mu kiseera kino.

 Kaweesi ng'ali ne Kayihura gye buvuddeko

Kaweesi ng'ali ne Kayihura gye buvuddeko

Mu bye baayogedde n’ensonga ya AIGP Andrew Felix Kaweesi baagituuseeko era Kayihura n’abeeyabiza n’ababuulira ekimuli ku mutima.

Kaweesi eyali omwogezi wa poliisi yakubwa amasasi nga March 17, 2017 e Kulambiro nga yaakava mu makaage ne bamutta ne ddereeva we wamu n’omukuumi we.

Abantu bana baasisinkanye Kayihura wiiki ewedde nga kuliko ne Minisita omukyala (amannya galekeddwa) era Bukedde yayogeddeko n’abamu ku bantu abo ne balambulula ebyo bye baayogeddeko n’eyali omuduumizi wa poliisi mu ggwanga okumala emyaka 13.

BYE YAYOGEDDE KU KAWEESI

Okuva lwe yakwatibwa nga June 13, 2018 nga bamuggya ku ffaamu ye e Kasagama Lyantonde, Kayihura abadde teyeeyabiza bantu, wabula wiiki ewedde nti yatandise okubuulira abamu ku bantu abaamukyalidde ebimuluma.

Baamusisinkanye mu kkomera e Makindye wabula omu ku bantu bano yategeezezza nti yasoose kuwubisibwa nti Kayihura bamuzzizza mu makaage e Muyenga wabula bwe yatuuseeyo ate ne bamutegeeza nti taliiyo; olwo kwe kudda e Makindye n’alemera ku baserikale ba “Militale Poliisi” abavunaanyizibwa ku kifo kino.

Oluvannyuma lw’okwebuuza, abaserikale baamukkirizza okuyingira era ne bamuwa essaawa emu yokka okulaba Kayihura era ne bamulaalika nti obudde bwe buggwaako ng’asiibule. Abalala okuli ne Minisita tebaabasumbuye nnyo.

Ku bonna abakkiriziddwa okumulaba, kyategeezeddwa nti Kayihura yennyini yabadde amaze okulaga abaserikale nti yeetaaga okubalaba.

Kayihura nti, yasoose kubalaga bulumi bw’alina okuwulira nti waliwo n’abantu abalowooza nti alina ky’amanyi ku kutemulwa kwa Kaweesi.

Yabalambululidde engeri gye yali akwatagana obulungi ne Kaweesi era n’abategeeza nti yasanga Kaweesi n’amulabamu obusobozi era n’asalawo n’amutendeka n’amukuza mu madaala olw’obusobozi bwe yamulabamu.

Yabagambye nti, kino kyanyiiza abamu ku baserikale abaamadaala aga waggulu nga bamulaba ng’abiibiita Kaweesi nti kyokka bino tebyamuggya ku mulamwa yakitwala ng’atabiwulidde n’agenda mu maaso.

Yabagattiddeko nti Kaweesi yali mukono gwe Ogwa ddyo.  Bwe yabeerangawo, yasobola nga n’okuggyako essimu ye ne yeebaka mu mirembe ng’akimanyi bulungi nti kyonna ekinaaba kiguddewo, Kaweesi asobola okukimaliriza.

Yagasseeko nti, yakimanya nti olunaku lumu bujja kukya nga takyali muduumizi wa poliisi era Kaweesi y’omu ku bantu be yali atunuulira abasobola okudda mu bigere bye.

Yamwogeddeko ng’omuntu eyali omugezi wadde nga naye yalina ensobi ze ng’omuntu nti kyokka baazimulooperanga enfunda eziwera naye bwe yamubuuzanga n’alaba nga tewali buzibu bunene, ne basigala nga batambuza emirimu.

Nti awo we yabategeerezza nti aba kuba nga yalina akantu konna ku Kaweesi yandibadde amaanyi agassa ku misango gye baamulooperanga ku Kaweesi n’alagira ne bamuggalira n’avunaanibwa.

Mu bimu ku byogerwako y’enkwata y’omusango gw’okuttibwa kw’omusuubuzi w’omu Kampala Wamala Ssendeeba gwe battira e Mutungo kyokka omu ku bannamwandu n’alumiriza Kaweesi nti yalemesa omusango guno okukwatibwa obulungi.

Omu ku baamusisinkanye yategeezezza Bukedde nti: Buli lwe yabadde ayogera erinnya lya Kaweesi, ng’alaga obulumi.

Yatuuse n’okubategeeza nti olunaku olwo lwe batta Kaweesi kumpi yawunga era yatuuka n’okutomera ekisenge nga takirabye.

Nti mu ngeri eraga ennyiike yatuuse n’okugamba omu ku baamusisinkanye nti bw’anaaba asisinkanye Pulezidenti amugambe nti bw’aba nga naye alowooza nti Kayihura alina akakwate konna ku bya Kaweesi, mwetegefu okuwanikibwa ku kalabba akadde konna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.