
Baroza ayiggibwa
Ebitongole bino byasindise bambega okutalaaga ebifo Baroza mw’asuubirwa n’okusuula enkessi okutuusa lw’anaakwatibwa.
Bambega beegabanyizzaamu abamu ne batuukira Algeria, abalala baagenze Turkey, waliwo abaagenze e Canada ne Belgium.
Bonna bagoberera bye bazze balondoola ku Baroza okuva lwe yava mu ggwanga mu bbanga lya wiiki ssatu nga Andrew Felix Kaweesi yaakattibwa.
Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola ku Lwokusatu yalangiridde nti, Jonathan Baroza yeewaggula okuva mu mirimu gye baamutumako emitongole mu Algeria n’adda mu bibye era anoonyezebwa.
Kino kiddiridde poliisi okuyita mu akulira ekitongole ekivunaanizibwa ku nzirukanya y’emirimu n’okukyusa abaserikale mu poliisi Hajji Moses Balimwoyo okuyisa ekiwandiiko ekiraga nga Baroza bwe yabadde abuze ku mulimu nga tasabye yadde okutegeeza ku bakama be nga yakifulumizza nga July 15, 2016.
Martin Okoth Ochola yayongeddeko nti Baroza yasindikibwa okukiikirira poliisi ya Uganda ku kitebe kya poliisi ya Africa mu ggwanga lya Algeria wabula omulimu n’agusuulawo nga tamanyiddwa gy’ali.
“Kitukakatako okunoonya Baroza yonna gy’ali kuba ffe nga bakama be twamusindika mu ggwanga lya Algeria kyokka nga kati taliiyo nga tunoonya gy’ali nga bwe tumufuna alina okutubuulira ekyamutuukako”, Ochola bwe yategeezezza.
Kigambibwa nti bambega entegeka gye baalina mu kusooka ya kumatiza Baroza akomewo afuuke omujulizi alumirize eyali mukama we Gen. Kayihura ne basajja be abaakwatibwa mu mwezi gwa June omwaka guno.
Ddiiru eno Baroza yasooka n’agikkiriza kyokka oluvannyuma lw’okwerowooza ne yeekuba era mu kifo ky’okudda yasazeewo kwemulula okuva kitbe w’abadde n’abulawo.
Bamuteebereza kubeera mu Algeria munda oba Turkey, Canada oba okuddukira mu Belgium.
Nga baakakwata Gen. Kayihura, Ochola yayita Baroza okukomawo okuva mu ggwanga lya Algeria gye yali atumiddwa wabula n’abulira ku kisaawe ky’enyonyi mu ggwanga lya Turkey ng’atya okukomawo okukwatibwa ebitongole byokwerinda mu ggwanga.
Baroza yabula okuva mu mwezi gwa June era nga kyalagidde omuduumuzi wa poliisi y’e Mbarara okwaza amaka ga Yovas Kabiguruka ku kyalo Karora e Rugando.