TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakubye amasasi nga batangira eyabadde aggya ku muserikale emmundu

Bakubye amasasi nga batangira eyabadde aggya ku muserikale emmundu

Added 21st July 2018

Bakubye amasasi nga batangira eyabadde aggya ku muserikale emmundu

 Nsubuga nga yeekweka ebifaananyi.

Nsubuga nga yeekweka ebifaananyi.

POLIISI ekubye amasasi mu bbanga ng’erwanagana n’omumenyi w’amateeka eyabadde ayagala okubba emmundu ku baserikale. Mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano, poliisi y’oku Kaleerwe yakubye amasasi bwe yabadde ekwata Kasim Nsubuga 25, ow’e Mulago ng’anoonyezebwa poliisi ez’enjawulo ku misango egitali gimu.

Okukwatibwa kwaddiridde abakulira ebyokwerinda mu Dobbi Zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe okusanga Nsubuga ku ssaawa 7:00 ez’ekiro ng’alina ebintu by’ava okubba.

Muhammad Ssekate akulira ebyokwerinda yayise abaserikale ne bamutaayiza wabula n’akwata omuserikale eyabadde n’emmundu n’amulwanyisa ng’ayagala kugimuggyako ekyawalirizza abaserikale abalala okukuba amasisi agaazuukusizza abatuuze ne bayamba ku baserikale ne bakwata Nsubuga.

Ssekate yagambye nti, okusinziira ku kunoonyereza, abatuuze baalumirizza abadde akulira ebyokwerinda mu kitundu nti y’akolagana n’ebibinja by’ababbi abatigomya abantu kuba ne Nsubuga bwe baamaze okumukwata, yawaanyisiganyizza ebisongovu n’abadde akulira ebyokweringa ng’amulanga okumulyamu olukwe. Joyce Nakalyango omu ku batuuze yagambye nti ennaku zino waliwo ebibinja by’ababbi ebiva mu bitundu ebirala ne bitigomya abatuuze b’e Makerere, Mulago, Kanyanya, era nti Nsubuga alina ekibinja eky’omutawaana.

Bwatyo n’asaba poliisi okumutwala mu kkooti avunaanibwe. Nsubuga yasangiddwa n’ekyuma kya ggaasi, bulangiti, emizindaalo n’ebirala wabula mu kwewoozaako, yategeezezza nti yabadde anoonya ssente mukyala we ali ku kitanda eky’okwagala okuggyako abaserikale emmundu yagambye nti kasita teyagimuggyeeko. Yaguddwaako omusango ku fayiro nnamba, SD REF 05/7/21/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...