TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lipoota efulumiziddwa ku bakozesa mobile money etiisa!

Lipoota efulumiziddwa ku bakozesa mobile money etiisa!

Added 22nd July 2018

Lipoota efulumiziddwa ku bakozesa mobile money etiisa!

BANNAYUGANDA balaze nga bwe bakoseddwa omusolo gwa ‘mobile money’ bukya gutandika kukola ate abali mu bizinensi y’okusindika ssente ne balaga nti batuuse okukuba emisota olw’okubulwa bakasitoma.

Bino biri mu lipooti y’ekitongole kya Whitehead Communications ekyakoze okunoonyereza mu Bannayuganda nga baagala okuzuula engeri gye bayisiddwaamu n’omusolo ogwa ssente 200/- ogwa ‘Social Media’ ne ssente ezaateekebwa ku mobile ‘money’. Abantu baabuuziddwa ku ngeri gye bakozesaamu emikutu gya Whats App ne bategeeza nti 96 ku buli 100 babadde bagyeyambisa mu myezi mukaaga egiyise.

Kyokka okuva nga July 1 lwe baateekako omusolo ogwa ssente 200/- buli lunaku omuwendo gwesaze okutuuka ku bantu 85. Ku bantu 85, abantu 40 bokka be baakakasizza nga bwe basasula omusolo, abalala 57 bakozesa VPN, 38 bakozesa Wifi ate basatu ne bakozesa amakubo amalala.

Ku bantu abasasula omusolo 86 be beesasulira, basatu basasulirwa ababakozesa, basatu basasulirwa baganzi baabwe, basatu famire y’ebayamba, babiri mikwano gye gibayambako ate babiri bantu balala.

Emikutu gya Social Media abantu gye basinga okwettanira kuliko; WhatsApp eyeeyambisibwa ebitundu 92, facebook abantu 92, twitter yeeyambisibwa abantu 69, Instagram bagyeyambisa 62, abantu 36 beeyambisa Linkedln, 30 beeyambisa Skype, 24 Snapchat ate babiri beeyambisa Google Han. Emikutu gino bagyeyambisa mu mirimu egigasa omuli okuwuliziganya n’emikwano, bakasitoma, okutuuza enkiiko, okukola okunoonyereza, okusindika n’okufuna ebiwandiiko, okusuubula ne mu nsonga endala.

Abantu abakozesa emikutu gya social media okukola bizinensi abawera 1,640 bwe baabuuziddwa engeri gye bakoseddwa baagambye nti; emirimu gitambula kasoobo, abantu batono abakyakozesa emikutu era abawera ebitundu 71 baategeezezza nti batataaganyiziddwa nnyo.

Bwe baabuuziddwa oba nga bawagira omusolo ogwa ssente 200/- omuntu omu yekka ye yagambye nti aguwagira nnyo. Abantu basatu baagambye nti, bawagiramu, babiri tebannaba kusalawo, 21 tebawagira ate 73 tebawagirira ddala.

Bwe kyatuuse ku ky’okuwagira omusolo gwa ‘Mobile money’ tewali muntu yafuniddwa ng’aguwagira. Ensonga ezitabawagiza musolo guno kuba bagulaba ng’okusasula emirundi ebiri, okweyambisa obubi ssente, okunyigiriza abaavu, obuteetegeka kimala n’okuba ng’ensonga yakwatiddwa bubi.

MOBILE MONEY Abantu abakola ebitundu 93 baategeezezza nti balai beeyambisizzaako mobile money mu myezi omukaaga egiyise. Abantu babiri baagambye nti bakozesezza nnyo mobile money mu July, 2 bagikozesa kye kimu nga bwe kyali, 44 mu kiseera kino bagikozesa kitono ate 36 baagambye nti baagyesonyiyira ddala.

Ku bali mu bizinensi ya mobile money abawera 36 baagambye nti bizinensi yafa kuba tebalabira ddala bakasitoma. Bwe baabuuziddwa oba nga mobile money erina engeri gy’ekosezzaamu bizinensi zaabwe abantu abawera 2,334 be baayanukudde ekibuuzo kino. Abamu baagambye nti baalwawo okusasulwa, okutataaganya, ssente ezikola bizinensi zeeyongedde, ennyingiza yakendeera olwa bakasitoma abamu okutandika okukozesa bbanka n’okwetambuliza ssente.

ENGERI OKUNOONYEREZA GYE KWAKOLEDDWAAMU Oluvannyuma lwa Palamenti okuyisa bajeti y’eggwanga nga June 1, 2018 mwe baateeka omusolo ogwa 200/- buli lunaku ku bantu abakozesa Whats App ne Facebook n’omusolo gwa 1% ku muntu aggya ssente ku mobile money.

Emisolo gyatandika okukola nga July 1, 2018. Ekitongole ky’obwannakyewa ekya Whitehead Communications kyakoze okunoonyereza ne kifulumya lipooti ku ngeri emisolo gye gikosezzaamu abantu. Abantu abawera 3,015 be baabuuziddwa mu kunoonyereza kwatandise nga July 13 ne kukomekkerezebwa nga July 16, 2018. Abantu abamu baatuukiriddwa mu buntu ate abalala ne baddamu nga bayita ku yintaneeti.

Ku baabuuziddwa abantu ebitundu 72 ku buli 100 baabadde babeera mu Buganda, abantu munaana babeera mu bukiikaddyo, abantu bataano b’e Buvanjuba nga abaabuuziddwa baavudde mu disitulikiti eziwera 93. Abasinga abaabuuziddwa babeera mu Buganda nga bali wakati we myaka 18 ne 35. Abasajja baabadde 74 ku bantu bonna abaabuuziddwa ate abakazi nga bakola ebitundu 26. Abasinga baabadde bayivu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...