
Nangobi nnansi eyakubiddwa. Ku ddyo ye Dr. Daaki
Sarah Nangobi, 28, omuzaalisa ye yaloopye akulira eddwaaliro lino Dr. Stephen Daaki nti yamukubye ng’amulanga kulagajjalira omulwadde gwe yabadde yaakalongoosa.
Ekyamuwalirizza okuloopa bwe bulumi bw’awulira mu kibegabega era nga n’omugongo gumuluma, ng’ate ali lubuto lukulu.
N’ekirala nga bw’ali omuntu omukulu kyamuyisizza bubi era yafunye n’okutya era n’ekitiiibwa ky’amukendeddeko olw’okumuyisaamu empi ng’omwana.
Omusango yaguloopye ku CPS e Kamuli mu ofi isi enoonyereza ku buzzi bw’emisango, era poliisi yatandise okunoonyereza wadde nga tennaba kukwata dokita ono. Agamba nti yali akola ku balwadde kyokka dokita n’amutabukira nti yagayaaliridde omulwadde eyabadde yaakalongoosebwa ng’azze n’engulu.
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Busoga North, Michael Kasadha yakakasizza ng’omusango bwe gwaloopeddwa n’agamba nti bakyanoonyereza kwe kyavudde.
NNAMUKUBYE LWA BUGAYAAVU - DOKITA
Bukedde bwe yatuukiridde Dr. Daaki mu ofi isi ye ku Lwokutaano, yagambye nti, naye awulira ηηambo nti gw’akulira yamuwawaabidde.
Teyeegaanyi kya kumukuba, wabula yabuuzzizza oba kiba kya buvunaanyizibwa omulwadde amaze okulongoosebwa ng’azze n’engulu, okumuleka ng’abooyaanira ku katanda ng’omusawo eyandimusindise mu kagaali amutwale mu woodi talabikako, ali mu bibye!