TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Vvaawompitewo mu kalulu k'e Bugiri: Museveni, Bobi Wine bagenze balage amaanyi

Vvaawompitewo mu kalulu k'e Bugiri: Museveni, Bobi Wine bagenze balage amaanyi

Added 25th July 2018

EKIRI mu kalulu k’e Bugiri vvaawompitewo! Abeesimbyewo bonna n’abawagizi baabwe leero lwe bakomekkerezza kampeyini, Pulezidenti Museveni, Dr. Kizza Besigye ne Bobi Wine bataddemu ggiya okulaba ng’abantu be bawagira bawangula akalulu.

 Basalirwa (JEEMA), Namatende (FDC) ne Okecho (NRM) abavuganya mu kalulu k'e Bugiri

Basalirwa (JEEMA), Namatende (FDC) ne Okecho (NRM) abavuganya mu kalulu k'e Bugiri

EKIRI mu kalulu k’e Bugiri vvaawompitewo! Abeesimbyewo bonna n’abawagizi baabwe leero lwe bakomekkerezza kampeyini, Pulezidenti Museveni, Dr. Kizza Besigye ne Bobi Wine bataddemu ggiya okulaba ng’abantu be bawagira bawangula akalulu.

Kampeyini zino ezibadde ezaakaasammeeme, zaafiiriddemu omuwagizi wa Asuman Basalirwa ate abantu abalala okuva mu nkambi ez’enjawulo, bafuniddemu ebisago n’abamu bakwatiddwa ne baggalirwa olw’effujjo.

Mu kulonda okugenda okubeerawo ku Lwokutaano (July 27) ng’ensiitaano ey’amaanyi eri wakati w’abantu basatu; John Francis Okecho (NRM), Asuman Basalirwa (JEEMA) ne Eunice Namatende (FDC).

Museveni y’akulembedde mu kunoonyeza Oketcho akalulu, Besigye n’asimba emabega wa Namatende ate Bobi Wine n’akulembera olutabaalo Basalirwa lw’alimu.

Abeesimbyewo bali bana wabula Joel Wamono (talina kibiina) ebbugumu ly’alina ttono nnyo era abalonzi abamu tebamanyi nti naye yeesimbyewo.

Ekifo kye bavuganyaako kya mubaka wa Palamenti owa Bugiri Munisupaali, emu ku Munisupaali omusanvu ezaatoddwaawo Palamenti nga zaatandise okukola nga July 1, 2018. Munisipaali endala omukaaga ye; Njeru, Nebbi, Kotido, Sheema, Apac ne Ibanda era nazo okufaananako nga Bugiri Munisupaali, kampeyini zaayo zikomekkerezebwa leero , balonde ku Lwokutaano.

Ng’oggyeeko okulonda omubaka wa Palamenti, Munisupaali ezo zigenda kulonda ne bameeya ate eggulo ku Lwokubiri waabaddeyo okulonda bakansala b’emiruka, abakyala n’abavubuka abagenda okukiika ku nkiiko eza Munisupaali ezo omusanvu.

MUSEVENI ATADDEMU GGIYA

Enkambi ya Oketcho yeeyongedde ebbugumu olwa Pulezidenti Museveni okusalawo okumalira e Bugiri mu kaweefube we ow’okuwagira abeesimbyewo ku tikiti ya NRM mu Munisipaali zonna empya.

Museveni yakubidde aba NRM bonna abeesimbyewo mu Munisupaali y’e Njeru, Nebbi, Kotido, Sheema, Apac ne Ibanda nga Mmande lwe yabadde e Njeru ate eggulo yayimirizzaamu ebya kampeyini okwaniriza Katikkiro wa Buyindi Narendra Modi. Ssaabawandisi wa NRM , Justine Kasule Lumumba yategeezezza nti Pulezidenti agenda kukuba olukuhhaana gaggadde mu ttendekero erya Bukholi Technical School okusabira Oketcho akalulu.

Ekimu ku Museveni by’asuubirwa okumaliriza kwe kugatta enkambi ya NRM e Bugiri eyeetemamu okuviira ddala omwezi oguwedde lwe baagenda mu kamyufu, Oketcho n’awangula Siraje Lyavaala.

Ab’enkambi ya Lyavaala baakiteeka ku Tanga Odoi nti yadibaga akalulu ako n’ekigendererwa eky’okuyisaawo Oketcho ate nga balowooza nti Lyavaala yalina embavu okuvuganya Basalirwa ne Namatende okusinga ku Oketcho.

Baayingizaamu n’amawanga nga bagamba nti Oketcho Omujapadhola ajja kukaluubirirwa okuwangula ekitundu ekirimu Abasoga abangi ne bagattako nti, akalulu kayinza okumaliriza nga kafaananye ak’e Rukungiri, akaakyusibwa ‘siyaasa’ w’eddiini.

Lumumba amaze ebbanga ng’akubye enkambi e Bugiri okunoonyeza Oketcho akalulu wakati mu ndooliito z’abawagizi ba NRM mu Bugiri ezatuusizza ne Lyavaala okuwagira Basalirwa.

Ekibinja ky’abavubuka ba NRM ekirala nakyo kyatuuzizza olukiiko ku nkomerero ya wiiki ewedde ne balangirira nti si baakwetaba mu kalulu ako okuggyako nga basisinkanye Museveni ne bamuyitiramu ebibaluma abinogere eddagala.

Bino byonna Museveni by’asuubirwa okugonjoola okuyamba owa NRM okutangaaza emikisa gye mu kalulu kano.

BESIGYE NE BOBI WINE BEEGERA ERYAANYI

Ng’oggyeeko NRM, akabbinkano ak’amaanyi kali wakati w’enkambi y’aba FDC n’aba JEEMA nga leero Besigye ne Bobi Wine nabo basazeewo okulumba e Bugiri bawunzike kampeyini z’abantu baabwe mu maanyi.

Besigye y’akulembedde Namatende (FDC) so nga Bobi Wine ali ku Basalirwa ab’ebibiina ebyobufuzi eby’enjawulo okuli; DP, UPC, CP ne JEEMA gwe baasalawo okuwagira.

Basalirwa nga ye Pulezidenti wa JEEMA, olukuhhaana lwe olusembayo alutadde Naluwerere Trailer Park nga lugenda kwetabwako omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi (Bobi Wine), Pulezidenti wa DP Nobert Mao, n’ababaka ba Palamenti ab’oludda oluvuganya gavumenti abalala.

Enkambi ya Basalirwa yabadde ategese olukuhhaana olusembayo mu kibangirizi kya Bus Park kyokka poliisi n’emugaana ekifo ekyo kubanga kiri kumpi nnyo n’ekifo ab’enkambi ya NRM we bagenda okubeera ne Pulezidenti Museveni. Olukuhhaana lwa Namatende lutegekeddwa ku Hindocha Ground P/S nga lugenda kwetabwamu ebikonge bya FDC ebikulembeddwa Besigye n’abalala.

Oketcho, Basalirwa ne Namatende buli omu awera okuwangula nga bagamba nti balina obuwagizi bungi era enkuhhaana zaabwe zibadde zijjuza abawagizi.

Bugiri Munisupaali erimu Divizoni bbiri okuli Eastern ne Western Divizoni. Divizoni zombi zirimu emiruka ena okuli Naluwerere, Nkusi, Bwole ne Ndifakulya.

Enkambi ya Basalirwa egamba nti alina enkizo okuwangula akalulu kano kuba azaalibwa mu Munisipaali eno mu muluka gwe Naluwerere mu LC 1 ya Butambula East era nga mw’alondera.

Namatende azaalibwa mu Ggombolola Nankoma mu Disitulikiti y’e Bugiri era emirundi gyonna egiyise, gy’abadde alondera era kino kibadde kikozesebwa nnyo mu kampeyini nga bamubuuza oba yakyusizza n’adda mu Munisipaali kubanga bw’aba teyakikola, tagenda kuba na mukisa.

Ekyawaliriza Namatende okwesimbawo mu Munisipaali eno yali yaakavuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Bugiri emirundi esatu ng’awangulwa kyokka nga mu Town Council ye Bugiri eyafuuliddwa Munisipaali nga y’asinga.

Aba FDC nabo beesigama ku kino okugamba nti tebayinza kuleka muntu abadde awangula mu Town Council enfunda ezo zonna.

Wadde Basalirwa naye yabalaga nti abadde awangula mu Town Council enfunda z’abadde yeesimbawo mu Bugiri North kyokka baggyayo ssemateeka wa FDC mwe beesigama okugaana okusimba emabega wa Basalirwa nga bagamba nti ekibiina we kirina omuntu ow’amaanyi, kibakakatako okuwagira omuntu oyo ng’ekibiina.

Wabula waliwo abamu ku ba FDC abaasalawo ku lwabwe okuwagira Basalirwa nga bagamba nti y’anaayuuya aba NRM mu Palamenti.

Okecho azaalibwa mu ggombolola ye Muterere eri mu disitulikiti ye Bugiri mu muluka gwe Kimbale kyokka yalina ennyumba mu Munisipaali eno gye yatunda gye buvuddeko naye alinamu n'emirimu emirala gy’akoleramu era ab’enkambi ye bagamba nti wadde tebamuzaala mu Munisipaali, naye agibeeramu nnyo.

Wamono azaalibwa mu disitulikiti ye Mbale kyokka alina amaka mu munisipaali eno okufaananako Basalirwa, naye mw’alondera.

Basalirwa alina obuwagizi mu basuubuzi naddala abasasula emisolo ne mu bavubuka naddala abasomyeko n’abasajja bakulu ababadde bawagira Hajji Siraji Lyavala eyamwegattako.

Enkambi ya Basalirwa yeeyongeddemu amaanyi oluvanyuma lwa Hajji Lyavala naye abadde mu lwokaano luno okuvaamu n’alangirira nga bwe yeegasse ku Basalirwa ekyawalirizza Ssabawandiisi wa NRM, Kasule Lumumba okugendayo boogeremu kyokka Hajji Lyavala ne yeerema.

Lyavaala okusala eddiiro kyavuddeko n’akajagalalo poliisi y’e Bugiri n’ekuba omuvubuka Asuman Walyendo essasi eryamuttiddewo.

Omuluka gwe Bwole Hajji Lyavala mw’asula, omuluka gwe Nkusi ssaako n’ekitundutundu ky'omuluka gwe Ndifakulya omuli ekibangirizi ky’amakolero nga kw’ogasse n' ekitundu mu muluka gwe Naluwerere ng’eno Lyavaala gy’azaalibwa, Basalirwa yafunyeeyo amaanyi nga gava mu Lyavaala.

Lyavaala eyamala ebisanja kumpi bisatu nga ye ssentebe wa disitulikiti y’omu ku bafuuse ensonga mu kalulu kano era aba NRM abamu balina essuubi nti Museveni asobola okumugonza n’alangirira nga bw’akyuse okuwagira owa NRM Oketcho ekisobola okukendeeza emikisa gya Basalirwa mu kalulu kano.

Amaanyi ga Namatende gali mu bikonge bya FDC ebyasalawo okumuwagira mu kunoonya akalulu ne mu kukakuuma nga bakolera wamu kitole.

Namatende obuwagizi bwe obusinga buli mu muluka gwe Ndifakulya kuba gwe gusingamu aba FDC abangi mu Munisipaali eno.

Obululu bw’abakyala nabwo abulinamu nnyo essuubi kubanga ye mukazi yekka ali mu lwokaano.

Wabula abakyala ba NRM bangi bakyasibidde ku Okecho naddala mu Muluka gw’e Naluwerere. Wamono bw’omugeraageranya ne banne okuva lwe yeewandiisa takubangako Lukuhhaana lwonna luggumivu akalulu ke akanoonya nju ku nju.

Eggulo Basalirwa yasisinkanye bannamawulire ku kitebe kya JEEMA e Mmengo n’asaba omuduumizi wa poliisi Martin Okoth Ochola okukola ku byokwerinda nga tasosola mu bibiina.

Yagambye nti ebisago bye bafunidde mu kalulu omuli n’okufiirwa omuntu tebyetaaga kugattako kufiirwa kulala mu kalulu kano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Eyeefudde agula essimu n'ag...

Bya Rosemary Nakaliri  Abasuubuzi b'oku Kaleerwe baazingizza ababbi abeefudde bakasitoma abazze okugula essimu...

Kayemba n'ensawo ye emweyagaza.

Kyama ki ekiri mu bbulifukk...

Geoffrey Kayemba Ssolo avuganya ku kifo ky’omubaka wa Bukomansimbi South ensawo ya Jjajja we emweyagaza.

Minisita Kibuule mu ssuuti ng'atongoza okusimba emiti gy'amasannyalaze.

Ab'e Nama bawonye okusula m...

Abatuuze mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bafunye akaseko ku matama bwe babawadde amasannyalaze...

Kasingye ng'akwasa Omusumba Jjumba masiki.

Poliisi n'amagye byetondedd...

POLIISI n'amagye byetondedde Omusumba w'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa (mu kifaananyi ku ddyo) olw'okukuba...

Buchaman ne mukyala we nga bakwasa abaserikale ebyambalo by'amagye.

Buchaman awaddeyo ebyambalo...

OMUWABUUZI wa Pulezidenti ku nsonga za Ghetto, Mark Bugembe amanyiddwa nga Buchaman akwasizza ab’ebyokwerinda ebyambalo...