TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje ne binnamakula

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje ne binnamakula

Added 26th July 2018

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje ne binnamakula

 Ekinzaali nga kikyali mu nnimiro.

Ekinzaali nga kikyali mu nnimiro.

BAJJAJJAFFE baalina ebintu bye baakozesanga wabula nga ffe twabisuula muguluka. Ebimu ku bye baakozesanga kye Kinzaali era ebyfaayo byakyo biri mu myaka nga 5000.

Wano kyaleetebwa Bayindi. Edda bajjajjaffe baagattangamu omuzigo omuganda ne basiiga omugole nga bamufumbirira n’abeera n’olususu olugonvu. Enkola eno twagidibya, tugenda mu saluuni abagole ne babafumbafumba okubalabisa obulungi.

Eby’okufumbirira byavaawo, kati omugole bamukolako mu lunaku lumu wabula oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’olususu luzibikidde, afunye embalabe, akaddiye n’olususu lwonna lukaze. Ekinzaali kyali kirungi nnyo nga kiyamba omugole okusigala ku langi ye kyokka ng’anyiridde ate ng’alabika bulungi.

Tukikamuddemu butto okukikugonzeza mu nkozesa.

Kyerusa kyokka nga tekisse kirungo ekikuuma langi y’olususu. Ekinzaali osobola okukigatta ne butto w’e nnazi omukyala ne yeesiga, era atangaala bulungi nga tagubyen’annyirira.

Abalina emitima omunafu, aguyamba okusaasaanya obulungi omusaayi n’okuzimba ebinywa by’omutima.

Akola ssabbuuni, osobola okumutabulamu n’ayamba abamukozesa okulongoosa ensusu.

Ayamba okwongeza amabeere mu bantu ate n’atangira ne kookolo w’amabeere.

Eyeesiba olubuto akuyamba okulugonza ate n’obutalwalwa kookolo wa kyenda.

Ayamba ku muntu akankana (abamu bwe bayita obuko) kimukolera kubanga

kiddaabiriza obutafaali bw’obwongo.

Ekinzaali kikola nga ‘toona’kubanga kikuyamba okutangaala n’otozikira naddala ku mukyala agenda mu mikolo.

Abakyala abatera okumera ebirevu naddala abakozesa ebizigo ebirimu ‘steroids’, ekinzaali kibayamba okubiziyiza olw’okukkakkanya obusimu bw’omubiri. Osobola okweesiiga ebizigo ebiva mu kinzaali.

Ekinzaali tukigatta n’amasavu agava mu luwonzi lw’enkoko omuntu ne yeesiiga.

Abalina binnamakula nga baayokebwa ebizigo, ekinzaali kibayamba okutereeza olususu.

 

Ekinzaali bakikolamu obunzaali awaka, ne bagattamu kaamulali wa “black pepper”. Funa kkiro y’ekinzaali, ogattemu ekitundu kya kkiro ya kaamulali ogattemu n’obusigo bwa kaliyandula n’ekitundu kya kkiro y’akawunga ka muwogo.

Bitabule wamu ng’olwo okoze obunzaali bw’osobola okulyako ate n’okutunda n’ofuna ssente ezongera ku nnyingiza yo.

Ku balunzi b’enkoko kiyamba okufuula enjuba y’eggi eya kyenvu n’ofa akatale.

Ddira woyiro ava mu kinzaali amatondo 20 ogatabulenga mu mazzi enkoko ge zinywa. Oba ddira kkiro emu ey’ekinzaali ogitabulemu kkiro 100 eza bulandi ogattemu ne kkiro emu eya ‘black pepper’, enkoko zo zijja kukola enjuba eyo eya kyenvu ate ng’enkoko tezirwala.

Ekinzaali ng’okigasse ne butto ava mu ‘black pepper’ kiyamba ku kiddukano ky’omusaayi mu nkoko. Okozesa amatondo 20, aga ‘black pepper’ n’ekinzaali mu liita 20 ez’amazzi, enkoko ne ziba nga nnamu.

Ayagala okuyiga okukamula omubisi tukusomesa n’osobola n’okutangira endwadde, kuba kikola nga ‘Anti-biotic’ atta obuwuka.

Eyakubwa puleesa ekinzaali kikuyamba okuzzaawo obutoffaali mu mubiri nga buddamu okwezimba. Eyasannyalala n’okugongobala, butto w’ekinzaali akuyamba.

Omwana asoma, kozesa butto w’ekinzaali kuba alimu ekirungo ekiziyiza okukoowa kw’obwongo n’oba ng’alowooza bulungi. lAbalina alaje, naddala abafuna ebirogologo, abasiiyibwa omubiri mwesiige ebizigo ebikoleddwa mu kinzaali.

Kiyamba okwawula n’okulaga amazzi oba ga ‘alkaline’ oba asidi. Eri omulimi, bw’oba oyagala okulaba ettaka lyo oba lya lunnyo oba lirimu asidi mungi osobola okufuna ettaka eryo n’olissa mu mazzi agafumbiddwa oba amapakire mu ccupa n’olisengejja n’ogakebera ng’okozesa ekinzaali.

Kino okissa ku kapapula, bwe gakyusa langi eya kitaka omanya ettaka lya lunnyo, bwe gasigala Nkozese biryo oba butto waabyo? mu langi ya kyevu omanya ettaka lirimu asidi. lEri omuntu alumwa ennyingo n’abafuna endwadde okuva mu kulya ennyama n’amata, osobola okusiigawo ekinzaali ng’okigasse ne ‘black pepper’.

Abaana abalwala omutwe, abagwa ensimbu ekinzaali kibayamba mu butakoowa bwongo.

Abalwadde ba sukaali ekinzaali kibayamba okumwenkanyankanya mu mubiri n’atalinnya wadde okukka naddala nga weeyambisa woyiro kubanga atambula mangu okutuuka mu musaayi. lMu baana teeka butto w’ekinzaali mu byokulya byabwe kuba ono yenkana ne kkiro 10 ez’ekinzaali eky’ensaano.

Bw’obaako n’ekikulumye weesiige woyiro w’ekinzaali obutabutuka. Alina enkyakya nga zikumazeeko ebbanga, weesiige buto w’ekinzaali ku bigere bijja kugonda bitereere.

Omukyala eyaakazaala ng’olina mugaba osobola okwesiiga ku buto ava mu kinzaali oba ebizigo ebiva mu kinzaali.

Alina enkovu ezizimba naawe osobola okwesiiga butto w’ekinzaali. 19 Butto ono asobola n’okufumba ne weewala okugula.

Ayamba ku baana nga basabuse olwa ppampa. Musiige butto w’ekinzaali ajja kutereera.

Ayamba ku kukuuma olususu obutabutuka olw’omusana n’ebbugumu. Weesiige, butto. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...